• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abantu ba Kabaka bakiise embuga mu nkola eya luwalo lwaffe n’Ensimbi obukadde 90,321,250 okuva mu masaza agenjawulo

Gambuuze by Gambuuze
September 15, 2026
in Amawulire
0 0
0
Abantu ba Kabaka bakiise embuga mu nkola eya luwalo lwaffe n’Ensimbi obukadde 90,321,250 okuva mu masaza agenjawulo
0
SHARES
2
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mengo – Kyaddondo

Oluwalo lw’ensimbi UGX90,321,250 lweluteeddwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu masaza; Buddu, Kyaggwe, Ssese ne banna Rotary aba Kampala Ssese islands nga lutikuddwa Minisita w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Ebitone Oweek. Robert Sserwanga Ssaalongo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Oweek. Sserwanga abakubirizza okwetangira endwadde, okukeberebwa obulamu n’okufuna obujjanjabi mu budde kubanga bikulu nnyo mu kukuuma obulamu bw’abantu wakati nga ebizinga byetegekerera okufuna eddwaliro eritambulira ku mazzi.

Minisita Sserwanga agamba nti Obwakabaka bwa Buganda wansi w’Ekitongole kya Kabaka Foundation bukubiriza abantu bonna okufaayo ku bulamu bwabwe, kubanga endwadde bwe zikwatibwa nga bukyali, omukisa gw’okuwona gweyongera.

Minisita Sserwanga asabye abaami ba Kabaka okusembeza abavubuka mu buweereza bwebalimu okusobola okuwewuka mu bukulembeze kubanga bbo bakyalina amaanyi okutambuza enteekateeka zino. Bwatyo abasabye n’okubateegeza ku lunaku lw’abavubuka omwezi ogujja ogwa Musenene.

Omugabe w’olunaku Omumyuka ow’Okubiri owa Ssekiboobo Mw. Fred Katende yeebazizza abaami okwetaba mu mpaka z’amasaza ez’omupiira n’abasaba okusigala nga bakuumye empisa okusobola okujjayo ekitiibwa ky’empaka zzino.

Omwami wa Kabaka ow’esaza Ssese Kweeba Oweek. Augustine Kasirye akubirizza abantu b’e Ssese obutemalira ku mulimu ogumu ogw’okuvuba wabula bateeke amaanyi mu kulima nga kino kijja kubayambako okubera n’ensimbi enkalu eziddabiriza awaka n’okulabirirawo.

Amasaza nga bwegakoze; Buddu:Mumyuka Kalungu – UGX 15,000,000 Musaale Butenga – UGX 5,000,000 Mut. XIV Malongo – UGX 3,870,000Mut. XX Bukakkata – UGX 8,060,000Mut. XIII Kisekka – UGX 6,500,000 Kyaggwe:Mut. Il Najjembe – UGX 4,190,000Mut. VI Kasawo – UGX 12,710,000Mut. V Nnyenga – UGX 4,690,000Ssese:Musaale Bubeke – UGX 1,400,000Ssaabaddu Mugoye – UGX 1,000,000 Omukolo guno gwetabiddwako Omubaka wa Palamenti akikirira Bukoto South Hon. Kizza Hakim Sawula, abaami b’eggombolola n’abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist