Bya Pauline Nanyonjo
Mengo Kyaddondo
Eggwanga ly’Abakenye okuva e Bugerere eririmu bazzukulu ba Buganda abawanganguka oluvannyuma lw’olutalo lwe bafuna ne Ssekabaka Ssemakokiro nga bano bakyalidde Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange e Mmengo okuwayamu mu nsonga ezitali zimu n’okwongera okuzimba enkolagana yabwe n’Obwakabaka mu kutambuza emirimu gy’enkulakulana.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asoose kuyita mu byafaayo bya Abakeye byalambuluddeko akatono nti bano baali batumidwa Ssekabaka Ssemakokiro mu lutabaalo lw’ebatatukiriza bulungi ekyabawaliriza okudduka okuva e Buganda okugenda mu bitundu okuli Teso, Ankole, Busoga,Zanzibar nawalala balaze nti basasana.
Oweek Mayiga Abakenye abakunze obuterabira mirandira gyabwe wadde nga balinga abatono nga bakola ekiro n’emisana okusobola okukyusa embeera z’obulamu bwabwe wamu n’okusoma nga bafuna obukugu obwenjawulo okusobola okuvuganya ku katale k’emirimu mu nsi yonna.
Kammalabyonna yeyamye nti Obwakabaka bwakutambulira wamu n’Abakenye singa baba n’okwolesebwa kw’okuzza Buganda ku Ntikko wamu n’okusosowaza ebyafaayo ebizimbibwako enkola y’emirimu.
Ssentebe wa Abakenye Elders Council Oweek George Wilson Nsamba Kumama nga ono yaliko minisita wa Kabaka omubeezi ku nsonga z’obwegasi era omubaka wa palaamenti owa Bbaale (2016-2021) ayanjudde kusoomooza okunene kwe balina okw’obutaba na busibuko bwa nkalakkalira kale nga buli wamu bayitibwa bagenyi kale nga bagala bayambibwe kunsonga y’okutereza ensimbuko yabwe n’ebika 32 bye balina. Kale ono alaze nti Obwakabaka bwa Buganda bwebusinga okubategera kale ono asabye bakirizibwe okudda eka batuule ntende.

Ssabawandiisi wa Abakenye Elders Council Kiriggwajjo Peter Ssalongo ayanjulidde Katikkiro ekiwandiiko kyebabaze mwebatuziza ensonga z’ebagala okumanyisa Buganda okuli nti tebakiriza kutambulira wansi wa bukulembeze bulala bwonna bwagala kubatwaala naddala nga ssi Buganda kuba bakiriza nti mwebaava, bano basabye okuwebwa ekiffo mu Buganda mwebasobola okukunganira befunire ku mpereza ya Ssabasajja kuba nabo bakiriza nti obukulembeze bubakwatako buterevu, basabye nabo bakikirirwe mu lukiiko lwa Buganda wamu ne kabinet.









