Bya Samuel Stuart Jjingo
Mpumu Kisoga – Kyaggwe
“Okwagala abantu n’okubeera omukakkamu kintu kikulu nnyo mu bulamu era kitusiiza abantu bangi mu maaso.”
Bino byogeddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika Oweek. PDG Robert Waggwa Nsibirwa, akikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga, bwabadde yetabye mu kuziika kwa maama w’Omulabirizi w’e Mukono Rt. Rev. Enos Kitto Kagodo, Mukyala Ruth Kibirige Nkumye eyafiridde ku myaka 98 e Mpumu-Kisoga mu Kyaggwe.

Oweek. Waggwa agamba nti omugenzi Muky. Ruth Kibirige alina kinene nnyo kyeyasiga mu bulamu bw’Omulabirizi Kagodo nga akula omuli ensigo y’okwagala abantu, obuntubulamu n’obukakkamu nga bino birabikira mu kifaananyi kyalaga abantu mu buweereza bwe e Kyaggwe ne Bugerere.
Oweek. Waggwa atenderezza nnyo maama w’Omulabirizi ono olw’okuleka omukululo gwa maanyi n’asaba abatambuze okufuba okulaba nga bogerwako mu ngeri ennungi nga maama ono.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, nga yakulembeddemu okubulira, agamba nti Katonda ye nannyini kubala budde nga ye webwagala era yalina obuyinza ebbanga lyonna bwatyo yebazizza nnyo Katonda olw’obulamu bwawadde maama Ruth n’ebirungi byakoledde ensi.

Ono awadde abakyala akaama okwagala ba nnazaala babwe olwo abaami babwe bongere okubagala. Omulabirizi Kagodo agamba nti ssi mutitiizi nnyo mu bulamu bwe naye okufa kwa maama we kwamutiisiza nnyo naye olw’abantu abamubeereddewo okuva bweyaffa kimuzizaamu amaanyi era yebazizza nnyo abantu bonna olw’okumulaga okwagala okumala ebbanga lino lyonna. Obubaka bw’Omukulembeze w’eggwanga busomeddwa Rtd. Gen. Katumba Wamala ate obwa Sipiika Hon. Sheila Amaniyo.

Okuziika kuno kwetabiddwako Omwami wa Kabaka ow’esaza Kyaggwe Ssekiboobo Oweek. Vincent Matovu awamu n’abamyuka be, Oweek. Anne Kigudde, abaami ba Ssaabasajja Kabaka abawumuzze, ababaka ba Palamenti; Hon. Harriet Nakwedde, Hon. Robert Maseruka n’abantu bangi nnyo.









