Bya Huzair jjuuko wasajja
Mengo – Kyaddondo
Abantu abali mu 3500 bebasuubirwa okulongoosebwa era nga balowooza nti okulongoosa mu nsisira zebyobulamu kyandikendezako ensansanya zensimbi bannauganda zebazze basasaanyiza mu malwaliro agenjawulo.
Bwabadde eyogerako eri abasawo bano, Oweekitbwa Waggwa Nsibirwa mu bubaka obwamutikiddwa katikiro Charles Peter Mayiga, agamba nti basubira abasawo 600 abagenda okutuusa obujanjabi obwobwereere ku bantu ba kabaka obujanjabi obwenjawulo era nga obwakabaka wamu nebitongole byebyobulamu agamba nti bonna balina okwolesebwa okwawamu okutuusa obujanjabi obwenjawulo ku bantu ba kabaka okusobola okubera abalamu obulungiWano Katikkiro akubiriza abasawo bano okufaayo okulaba nga basitula omutindo gwebyobulamu eri abantu ba kabaka okusobola okubera abalamu obulungi .

Abantu ba kabaka abasuka mu 100000 begenda okujanjabwa era akubiriza abantu ba buganda okugenda mu biffo 20 byebasizawo okulaba nga balongosebwa wamu nokutusibwako obujanjabi obwenjawulo ate nga bwabwereereOweekitiibwa era akubiriza abaami ba kabaka okulaba nga bakunga abantu mu masaza gabwe okulaba nga betanira enteekateeka eno wamu nokubawo webajanjabira okulaba nga babatusaako obuwereza obwenjawulo wamu nokuwagira abasawo .
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omukungu Eddie Kaggwa ndagala agamba nti omulimu gw’abasawo, naddala abasawo abakugu mu by’obujjanjabi, gwamugaso nnyo eri abantu.
Abantu ba Buganda, n’abantu ba Uganda okutwalira awamu, beetaaga abasawo abakola n’obumalirivu, obwesimbu n’okwagala abantu.Omukungu yebazizza nnyo Association of Surgeons of Uganda olw’omulimu omulungi gwe bakola, n’olw’okwegatta n’Abakulembeze ba Buganda n’ebitongole ebirala, okusobola okulaba nga abantu bafuna obujjanjabi obusaanidde.
Wano era asabye abasawo bano okugende mu maaso n’okujjanjaba abantu obulungi, okubalaga ekisa wamu n’okubafaako kubanga Obulamu bw’abantu bulina okubeera ekintu ekikulu ennyo eri abantu bonna.

Aba association of Surgeons of Uganda nga bakulembeddwamu Dr Moses Galukande akulira akakiiko akategeka olusisira luno agamba nti Baasalawo bajanjabe abantu ba Bugada mu districts 10 okuli mukono ,Buikwe ,Buvuma ,kayunga ,Nakaseke ,Kyankwanzi ne kiboga nti era bagenda okulongoosa abalwadde bonna wamu nokugema abaana bamasomero babatangire endwadde ezenjawulo eziyinza okukosa obulamu bwabwe mu maaso nga amaaso ,sickle cells nga bakukikola okuva leero okutuusa nga ennaku zomwezi 19 omwezi guno .
Dr Moses agamba nti bandiyagadde okubeera mu buli ddwaliro wabula ebikozesebwa tebibasobozesa kutalaga malwaliro gonna mu Buganda kyebavudde bateekawo enteekateeka eno.
Ono era ayongedde nakkatiriza nti okulongoosa kutwala ensimbi nnyingi era nga bwebalongoosa basigala balondoola abalwadde okulaba engeri gyebabera bayimiriddemu wamu nokubawa endabirira ennunji.
Bannadiini okuli Dean wa Namirembe ..Rev Dustan Kiwanuka Mazinga wamu ne Sheikh Ibrahim Ntanda ..Deputy supreme Mufti, Bebabazizza abasawo bano okwewaayo okulaba nga bataasa abantu ba Ssaabasajja Kabaka eta nebabasabira emikisa mu mulimo guno gwebagenda okukola.
Abasawo bagenda kujjanjaba abantu ba Ssaabasajja kabaka mu masaza okuli kyaggwe, singo, bulemeezi, busiro, buluuli, buvuma wamu ne bugerere basimbuddwa, nga eta bano basimbuddwa Omumyuka Owokubiri owakatikkiro Owek. Wagwa Nsibirwa mu bimuli bya Bulange e Mengo.









