Bya Gerald Mulindwa
Mengo – Kyaddondo
Aba Tuesday Class e Lubaga balungamiziddwa ku ntambuza y’Obufumbo eyesigamiziddwa ku buwangwa n’ennono.
Abafumbo abakatoliki abeegattira mu kibiina ki Lubaga Cathedral Parish Tuesday Class September edition, nga bano be baagattibwa mu mwezi gwa September bakiise embuga okutegeeza Kamalabyonna ku birungi ebiri mu bufumbo obutukuvu era lwaki abantu basaana okubwettanira.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asanyukidde nnyo ekibiina ky’abafumbo bafumbo kino olw’okutegeera obukulu bw’obufumbo nga abajuliza ebigambo bya Ssaabasumba Odama eyawummula nti amaka ly’e ggunjjuliro oba ebbanguliro erisooka.
Amaka agatebenkedde gafulumya abaana abalina emmeeme enteefu kyokka ago amasattulukufu gafulumya abaana abalina emmeeme ezitatebenkedde ekintu ekitali kituufu.
Oweekitiibwa Mayiga bano abajjukizza nti obufumbo bwetaaga okuddaabululwa buli kadde nga bakola ebintu ebibuzza obuggya kubanga kintu kiramu ekyetaaga okuliikirizibwa mu ngeri ez’enjawulo okuli; okutona obulabo, okwetonda nga waliwo asobezza, okweguya, kibasobozese okunyweza obufumbo bwabwe.

Kammalabyonna bano abasabye okumanya obukulu bw’okukola emirimu wamu n’okugunjaawo amakubo agayingiza ejjamba mu maka gaabwe kubanga amaka agatalina bya nfuna binywevu gayuuga, kale nno bano abakubirizza okuba abayiiya basobole okukyusa embeera mwe bawangaalira kyokka abakuutidde obutayayaanira bugagga bwa mangu obuyinza okubaviurako ebizibu.
Mukuuma ddamula abafumbo bano abasibiridde entanda okukolera awamu nga batambuza obufumbo bwabwe nga beewala entalo zayise entonotono ezigonjoolwa n’okwogera okusinga okussaawo embeera etali nnungi nga okuyombayomba, okulwanagana, nti bino bisiiga ekifaananyi ekibi naddala eri abaana be bazadde n’abantu mu bitundu mwe bawangaalira.
Ssentebe wa Tuesday class September Edition, Kalyango Oscar Kintu annyonyodde nti ekibiina kyabwe kyagunjibwawo ku mulamwa gw’okunyweza abafumbo mu bufumbo bwabwe n’okusobola okukuza abaana mu ngeri ey’ekitiibwa kwossa n’okukuuma ennono za Buganda.
Ono era yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’e miramwa egy’enjawulo gyazze assaako omulaka omuli okulima emmwanyi nga n’ekigendererwa eky’okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka.Omukolo guno gwetabiddwako Rev Fr. Denis Mugerwa omulungamya w’ekibiina kino ekya September edition, ne Minisita wa Kabineeti,Olukiiko n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba.









