• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abaami bakabaka mu ssaza ly’esingo babanguddwa ku ntuuza y’enkiiko n’enkubiriza yaazo

Gambuuze by Gambuuze
September 7, 2026
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
4
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stuart Samuel Jingo

Mitiyana – Singo

Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek.

Ahmed Lwasa atuuseeko ku kitebe ky’e Ssaza Ssingo ku Matutuma e Mityana, mu kaweefube w’okunnyikiza engiri y’emirimo emikulu egy’olukiiko lwa Buganda n’okubangula abakulembeze b’Obwakabaka ku nzirukanya y’olukiiko, enkubiriza, enteesa, n’enkubaganya y’ebirowoozo.

Oweek. Lwasa eno gy’asinzidde n’asaba abakubiriza b’enkiiko ku mitendera gy’e ggombolola, emiruka, n’obutongole okwewala okutuuza enkiiko ezirwawo olwo abakiise basobole okwenyigira mu mirimu emirala.

Oweekitiibwa Ahmed Lwasa agamba eky’okutuuza enkiiko okumala obudde obuwanvu kabonero ka bunafu obulaga nti emiramwa egy’okuteesaako tegirambikiddwa bulungi era kiba kisaana okunogerwa eddagala mu bwangu ddala.

Takomye awo, Oweek. Lwasa era asomoozeezza abaami ba Kabaka ku nneeyisa y’abwe mu bantu, ku mikolo n’awalala, n’abakuutira okweyisa obulungi era bayambeko Mukwenda okutambuza emirimu gy’essaza n’okwongera ekitiibwa emirimu gy’Obwakabaka gye batambuza.

Mu buwufu bwe bumu, oweekitiibwa Ahmed Lwasa, asabye abaami ba Kabaka okukubiriza abantu bonna okulimira wansi w’enteekateeka ya Situla Omutindo nga batambuza buli kimu kye bakola okujjamu ensimbi.

Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Oweek.

Noah Kiyimba akunze abantu ba Kabaka okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka ze bubasembereza mu Ssaza gaabwe okugeza; yinsuwa y’ebyobulamu, amasomero g’abaana abato aba nassale n’endala.

Omwami w’Essaza Ssingo Mukwenda, Oweek. Deogratious Kagimu yeebazizza nnyo Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda olw’enteekateeka eno ye gy’asuubira nti egenda kuzza amaanyi mu bantu ba Kabaka batambuze obuweereza nga baggumidde.

Mu kulambula kuno, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, awerekeddwako Ababaka b’Olukiiko ab’enjawulo; Oweek.

Andrew Mulwana Kizito, Oweek. Joseph Ddamulira Kawuma, Oweek. Kijjambu H R Stanley, Oweek. Eisah K. Mayanja, Mukasa Semei Peter, Oweek. Nyanzi Samuel, Omuk. David Ntege n’abaweereza abalala okuva mu Bwakabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist