
Bya Pauline Nanyonjo
Mengo -Kyaddondo
Kkooti ya Kisekwa; Gavumenti eyagala kweyambisa bukodyo bwayo mu kutaawulula emisango.
Kkooti ya Kisekwa mu Buganda kye kitaawuluzi ekyateekebwawo Ssekabaka Ssuuna II eyakwasa Katikkiro we eddimu ly’okubangawo akakiiko akasala emisango mu Buganda era kagunjibwawo n’erinnya eddiiro lya Katikkiro, erikyakola ne kumulembe guno Omutebi nga kasala emisango naddala egy’e Bika n’emira mu Buganda.
Gavumenti ya Uganda eyagala kweyazika ku magezi ag’enjawulo n’obukugu obukozesebwa mu kkooti ya Kisekwa n’ebitaawuluzi mu kusala emisango mu Buganda olw’obwangu n’obuyiiya, olwo nayo yewonye entuumu y’emisango egibatuumyeko ekintu ekisibye emirimu gya bannansi okutambula.
Mu kino, bano bategese omwoleso ku bitaawuluzi by’obwakabaka kyebayise “Alternative Justice System” ogunaaberawo nga 10/09/2026 ku kisaawe e Kololo.
Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Oweek Christopher Bwanika annyonyodde nti omwoleso guno gavumenti gwetegese gugendereddwamu okumalawo endooliito n’obutategeragana mu bannayuganda nga basala emisango egitali gya maanyi nnyo ku mutendera gwe byalo, era baagala obwakabaka bwa Buganda bugabaneko nabo ku kyama butya enkola eyo bwesobola okukozesebwa.

Oweek Bwanika alaze nti ensala y’emisango eno, abalamuzi mu kkooti za gavumenti baaginoonyerezaako nebakizuula nti eyanguyira nnyo abantu olw’obwangu bwekozesa wamu n’okutaasa ensimbi zaabwe zebandisaasaanyiriza mu kkooti. Ssentebe w’e ddiiro lya Katikkiro, Kisekwa, Dr Ssonko Robert Kanaakuloopa, ategeezezza nti kkooti gyakulira essala emisango gya mirundi ebiri okuli egyo egiva mu Bika ne mumaka kyokka nga ensalawo yabwe ssi yankomeredde, wabula ensala ya Ssaabasajja Kabaka ye yenkomeredde.
Kisekwa alaze nti bafaayo nnyo okutabaganya enjuuyi eziba zisoowaganye olwo ne basala omusango ogwo kyokka nga tebakulembeza kya kusinga musango wabula bafaayo okusomesa n’okuggyayo amazima.Omwami wa Kabaka ow’essaza Kyaddondo, Hajji Ahmed Magandaazi Matovu agamba nti obuzzi bw’emisango busobola okukendeezebwa okuyita mu bitaawuluzi ebiramulwa abaami ba Kabaka, ebiwumbawumba ku bantu mu bitundu gye bawangaalira ne bataawukana mu ngeri y’okussaawo empalala wabula okukuuma obwa sseruganda.
Kaggo ayongeddeko nti kizibuwala abalamuzi okumanya ekituufu ekiri ku kyalo era emisango oluusi bamala ga gusala wabula abantu abali ku byalo basobola okuyamba ku baami mu kusala emisango egiba giroopedwa.








