Bya Huzairu Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Katikiro asisinkanye ba ssenkulu ne bassentebe ba bboodi z’ebitongole by’obwakabaka okusala entotto ku kwongera okusitula omutindo mu mpeereza y’emirimo eri abantu ba Kabaka. Batudde ku kitebe ky’ekitongole ky’Ebyobulambuzi mu Buganda e Mmengo.

Mu bubaka bwe, Katikkiro abakubirizza okwongera okunyweza enkolagana wamu n’okunnyikiza ennyingo omukaaga eza situla omutindo nga bali mu buweereza bwabwe.
“Enteekateeka ya situla omutindo erimu ennyingo mukaaga era ennyingo ezo zizingiramu engeri ebitongole by’obwakabaka gyebikolamu emirimu kubanga ennyingo ezo zikwata ku bantu mu mbeera zaabwe eza bulijjo n’olwekyo wateekwa okubaawo omutindo ogusinga okuba ogwa waggulu mu bitongole” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Mukuumaddamula era akubirizza bassenkulu bano okufuba okulaba nga ebitongole wamu ne kampuni zebakulembera zikola amagoba kiyambe okutambuza obulungi emirimo gya Kabaka era n’abasaba okwewala okwekwasa obusongasonga obutaliimu.
Kamalabyonna yebazizza ba Ssentebe abaggya olw’okukkiriza okuweereza Kabaka waabwe.Abakubirizza okuteekawo empenda okusobola okuvvuunuka obuzibu obuba bubagwiridde obutali bumu kubanga obukulembeze kitegeeza kutema mpenda ezivvuunuka ebizibu.
Ssentebe wa ba Ssenkulu, Omukungu Roland Ssebuwufu, ategeezezza Katikkiro nti ensonga y’obumu n’okunyweza obwa sseruganda bibayambye nnyo okutambuza emirimo gy’ebitongole n’okubasobozesa okusasula emisoso egitali gimu.









