• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Aboomutima balamaze ku butaka: Katikkiro Mayiga akunze Obuganda okujjumbira enteekateeka z’Ebika

Gambuuze by Gambuuze
August 30, 2026
in Amawulire
0 0
0
Aboomutima balamaze ku butaka: Katikkiro Mayiga akunze Obuganda okujjumbira enteekateeka z’Ebika
0
SHARES
12
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Bbaale – Buddu

Bazzukulu ba Namugera Kakeeto ab’eddira Omutima Omuyanja, balamaze ku butaka bw’abwe e Bbaale e Buddu. Katikkiro Charles Peter Mayiga, nga naye muzzukulu mu Kika kino yeegasse ku bazzukulu banne mu kulamaga, n’asaba Abaganda okwemanyiiza okulamaga mu Kika okunyweza essiga ly’obumu mu Bika nga bwekiri mu b’e nzikiriza ya Abakatoliki, n’abasiraamu bwe balamaga e Rome ne Mecca.

Katikkiro akikaatirizza nti obukulu bw’e Bika tebuseebengerera era ekisinga obukulu kwe kukola nga amatoffaali agaazimba obwakabaka bwa Buganda.

“Enju ne bwogisiiga langi, amatoffaali bwegabiririra langi ebambukako, awonno ffe abaganda gye tukoma okwagala Kabaka gye tulina okwongera okusukkulumya obukulu bw’ebika gye tuva”, Oweek Mayiga bw’ategeezezza

Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano n’akowoola abantu bonna mu Buganda okwongera amaanyi mu nsonga z’Ebika byabwe, bawe Ab’Obusolya ekitiibwa, bakuume obutaka bwammwe, era bazimbe ebitebe ky’Ekika.

Ku nkulaakulana gy’alabye e Buddu, Katikkiro asanyuse okulaba emisiri gy’e mmwanyi n’ensuku, amayumba amalungi mangi gazimbiddwa, bongedde omutindo ku mmwanyi. Wabula olw’ekyeya ekisusse, abasabye basime enzizi bafukirire ebirime by’abwe, abalimi abaliraaliganye beegatte bafukirire wamu bataase ebirime by’abwe. Yebazizza gavumenti okutuusa amasannyalaze e Bbaale era n’agisaba ne mu bitundu ebirala egatambuze gatuuke mu bitundu byonna kireetewo enkulaakulana.

Omukulu w’Ekika ky’Omutima, Omutaka Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende, ku nsong y’okuzimba ekitebe e Mutundwe, asabye Katikkiro Mayiga abaweeyo olunaku lumu buli ssabbiiti, buli lunyiriri lukiike ewa Katikkiro baleete ejjamba okuzimba ekitebe kyabwe, mu ngeri eyefaanaanyirizaako oluwalo.

Bazzukulu ba Namugera Kakeeto, eno beesonzeemu obukadde obusobye mu 9 mwenda, zigende ku mulimu gw’okuzimba ekitebe ky’Ekika ky’Omutima e Mutundwe Kyaddondo.

Abamu ku Bazzukulu ba Namugera Kakeeto, abakiika mu lukiiko lwa Buganda, beetabye mu kulamaga kuno okulo; Oweek Damas Mulagwe, Pookino Oweek Jude Muleke, Oweek Robert Bbaale Mugera, bannaddiini n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist