• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Loodi Meeya Balimwezo aloopye obuwanguzi bwe embuga

Gambuuze by Gambuuze
August 19, 2026
in Amawulire
0 0
0
Loodi Meeya Balimwezo aloopye obuwanguzi bwe embuga
0
SHARES
5
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Loodi Mmeeya wa Kampala omuggya Ssaalongo Ronald Balimwezo akiise embuga okuloopa obuwanguzi bwe eri Katikkiro oluvannyuma lw’okuwangula akalulu k’obwammeeya wa Kampala mu Gatonnya wa 2026, ono era azze n’okufuna okuwabulwa okwenjawulo okuva embuga ku butya ekibuga bwe kyanditambuzidwa.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu nsisinkano eno ne yebaza abakulembeze ba Kampala ne gavumenti yonna olw’emirimu gye bakola mu kibuga okuli okuzimba enguudo, okuzimba obutale n’ebirala kyokka asabye nti mu lugendo lw’okukutereza ekibuga baleke kwonoona bintu bya basubuzi wabula babalambike ku butya bwe balina okukola.

“Njagala nnyo okubebaza emirimu gye mukola, omanyi kyangu nnyo okunenya abantu so kitukabiriza okwebaza abantu kale mwebale emirimu gye mukola okuli okututereeza enguudo, okuzimba obutale kuba abantu mu Uganda twafuna ekyejjo mu nkola y’emirimu nga buli kimu tukikola nga bwe twagala naddala okuyingira ku makubo” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro asabye abakulembeze ba Kampala obutafeebya bubonero bwa Kampala n’ebyafaayo ebwenjawulo nga bakoppa ebibuga ebyakula nga wano abajjuliza akasolo Empala omwabbulwa n’erinnya ly’ekibuga ekikulu, bano abasabye okuggyayo amakulu g’ebintu ebyo mu bubonero n’ebibumbe bye bakozesa mu KCCA.

Oweek Mayiga anokoddeyo ku bizibu eby’embagirawo ebisaanidde okukolwako nga okussaawo entambula ey’olukale eya bbaasi ezisobola okukendeeza ku kalipagano k’ebidduka mu Kampala, okussaawo enkola y’amadduuka okuba n’epipa omusuulibwa ebisaaniko wamu n’okubakubiriza obutafulumya ebyamaguzi bye batuunda nga sukaali kuba kikolwa kya bukugu.

Kamalabyonna taleseeyo kulambika bannabyabufuzi n’abakozi emirimu gya kikugu ku ntambuza y’emirimu nga bakwatagana okukulaakulanya abantu be bakulembera nga n’abantu ba Kampala kye batunuulidde y’empeereza ennungi kyokka ebyo bisobola kutuukibwako singa bakwatagana ne baggyawo obutamanya obutali bumu nga bogerezeganya.

Loodi mmeeya wa Kampala Ssaalongo Ronald Balimwezo alaze nti yakozesa buvumu bwamanyi okwesimbaawo ku kifo kya meeya wa Kampala kale nga obuwanguzi bwe, ngule nnene okuva ewa Katonda kuba yatisibwatisibwa nnyo nga avudde ku kifo ky’obubaka bwa palamenti.

Meeya Balimwezo anyonyodde nti obukulembeze bwe wakubutambuliza ku nkolagana ennungi ne bakozi banne aba KCCA awatali kugugulana kwonna kuba amanyi emirimu gye nga meeya era wakukolagana nnyo ne Ssenkulu wa KCCA okusobola okuggusa emirimu gya Kampala kale abo abataagala nkolagana yabwe abasabye waddeyo abasoma etteeka lya KCCA. Asabye Katikkiro okukunga Obuganda okwenyigira mu kulongoosa ekibuga kuba abakiwangaliramu be basinga okukikyafuwaza naye singa bannenyigira mu nteekateeka ezigundidwawo enkyukakyuka ey’omugundu yakulabibwa mu Kampala.

Ssenkulu wa Kampala Capital City Authority (KCCA) Hajjat Sharifa Buzeki alaze nti Buganda gwe mutima gwa Kampala mwe bakolera nga balina ebanjja okulaba nti bateekako enkulakulana ey’omugunddu eyamba abantu ba Buganda. Mu nkola empya ey’okuyonja ebitundu bya Uganda, kul lwa KCCA Hajjat Buzeki asabye Katikkiro okukunga abantu okwenyigira mu bulungibwansi gwe batuuma ‘Weyonje’ ono wamu n’okwongera okutambula nabo mu kusengula abakozi b’omubutale nga bazimba obubya obutukagana n’omutindo.

Ensisinkano eno yetabidwako ba minisita ba Kabaka abenjawulo, ba meeya ba dizoni ezenjawulo ezikola Kampala, ba Kansala ba KCCA wamu ne famire ya meeya Balimwezo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.