Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Ekisaakaate kya Nnaabagereka kisajjakudde, kiwezezza emyaka 20 nga kigunjula abaana b’eggwanga. Mu buwufu obwo, kikyusizza akabonero okulaga olugendo lw’e myaka 20 bwe lubadde olw’okwenyumirizaamu olw’obuwanguzi obuzze butuukirwako nga bweyolekera mu baana abazze bagunjulibwa mu kisaakaate okuva omwaka 2007.

Akabonero akaggya kanjuddwa Nnaabagereka eri Obuganda era ne katongozebwa wamu n’ekisaakaate kya Nnaabagereka Gatonnya 2027.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda asinzidde wano n’alangirira enteekateeka empya eya ekisaakaate, nga muno bagenda kuzimba amaka g’ekisaakaate nga gano ga kugatta ebikolebwa mu tekinologiya n’obuwangwa bwaffe. Nnaabagereka annyonnyodde nti okwolesebwa kwa kuteekawo ekifo ekijjayo obulungi ennono era nga kitumbula eby’obulambuzi. Bw’atyo asabye ebitongole ne bannamikago okubeegattako mu nteekateeka z’ekisaakaate.
Minisita w’enkulaakulana y’Abantu n’ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, asabye abaana n’abazadde okwekenneenya ennyo omubala gwa buli ssomero nti egimu gya kwongera okubalambika mu kutambulira mu mulamwa gw’e kisaakaate.
Oweek Nakate agamba Abaana bangi abayise mu mikono gya Nnaabagereka n’olwekyo balina obuvunaanyizibwa okumukwatizaako okuggusa enteekateeka z’obuntubulamu.
Dr. Jeff Ssebuyira, Ssentebe wa Bboodi ya Nnaabagereka Development Foundation, agambye nti mu myaka 20 ekisaakaate kigunjudde abaana 41000, era bayize okukola emirimo, bategedde obuwangwa n’ennono zaabwe, bayize eby’emikono nga beesigama ku mulamwa gwa “Laba, yiga, kola”, ne yeebaza abatendesi abasobodde okuwayo obudde okugunjula abaana.

Ekisaakaate kya Nnaabagereka Gatonnya 2027, kya kubeera ku Gayaza Junior school, ettabi ly’e Jjungo mu Busiro.









