Bya Gerald Mulindwa
Maganjo – Kyaddondo
Katikkiro alambudde ekkolero lya Maganjo grain Millers e Maganjo mu Ggombolola ya Mutuba 2 Nabweru e Ssaza Kyaddondo, ne yebaza abatandisi b’alyo okussa ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga.

Ekkolero lino likola emmere eriibwa abantu omuli; obuwunga, engaano, emmere y’ebisolo n’ebinyonyi. Katikkiro aliko ensonga munaana zanokoddeyo ezirimu eby’okuyiga ebiva mu kkolero lya Maganjo grain Millers.
1).Bulijjo okubeera n’ekiruubirirwa obutatya kutandika.
2). Okutandika n’ekitono okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa. Kamalabyonna agamba ennaku zino abantu baagala nnyo okutandika n’ebintu ebinene bye batasobola kuyimirizaawo, ate nga okutandika n’ekitono kikuyisa mu mitendera egitali gimu n’osobola okutuuka ku buwanguzi.
3). Okunywerera ku ky’otandise okwewala okubuguutana.
4). Kyotandise kikole n’okwagala awatali kukoowa. Agamba nga toyagala kukoowa tosuubira kufuna mu byotandise.
5. Beera mugumiikiriza.
6. Okukola emirimo n’abantu abalala awatali kwemalirira.
7. Boddukanya nabo emirimo beesige, obawe ebbanja nabo bakwesige.
8. Tambula n’omulembe oguliko. Bwolemererwa omulembe gukukyuusa.
Dr. Benon Lujja, omutandisi wa Maganjo grain Millers, asabye Katikkiro akubirize abantu balime kasooli kubanga akatale weekali, kuba mu kiseera kino kasooli n’omuceere byebakozesa biva Tanzania, Obulo nabwo ebitundu 95% bwebakozesa mu kkolero biva Tanzania, ate engaano ebitundu 97% eva bweru wa ggwanga, kyokka nga tulina ettaka eddungi wano mu Uganda, bw’atyo asabye Katikkiro akubirize abantu bettanire ennima ennungi kubanga akatale weekali.

Minisita w’Obulimi, Obulunzi, obuvubi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo, annyonnyodde nti ekkolero lya Maganjo Grain Millers, lijjayo ekifaananyi ekituufu mu nteekateeka y’obwakabaka ey’okusitula omutindo kubanga bakola eby’obulimi, eby’obulamu, amaka amalungi, ate n’ebitone, wamu n’okufunira abavubuka emirimo.
Omwami w’essaza Kyaddondo, Kaggo, Oweek Hajji Ahmed Magandaazi Matovu, yebazizza aba Maganjo Grain Millers okwongera ettoffaali ku by’enfuna bya Uganda, mu by’okulya n’ennyingiza, n’ekisinga obukulu kwe kufunira abavubuka emirimo nebasobola okuwagira enteekateeka z’obwakabaka n’e Ssaza Kyaddondo.
Emmere ya Maganjo eriibwa mu mawanga agawerako okuli; America, Bungereza, Canada, United Arab Emirates, South Sudan, Zanzibar, n’amalala.









