• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Asiika Obulamu…: Bannakibuga baanirizza Tubeere Balamu Yinsuwa

Gambuuze by Gambuuze
July 10, 2026
in Amawulire
0 0
0
Asiika Obulamu…: Bannakibuga baanirizza Tubeere Balamu Yinsuwa
0
SHARES
21
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abantu b’omu kikuubo begasse ku Yinsuwa ya Tubere balamu

Bya Pauline Nanyonjo

Kikuubo-Kyaddondo

Yinsuwa ya Tubeere Balamu esabuukuluddwa eri abantu ba Ssaabasajja abakolera mu kikuubo era bangi ku bbo beegasse ku Yinsuwa eno.

Ekitongole ki Kabaka Foundation nga kikwataganye ne Weerinde Insurance Brokerage Services mu mukago ogwabangibwawo ne Jubilee Insurance, bakkanya okutuuka ku bantu gye bawangaalira okubasomesa, okubaagazisa n’okubagatta ku Yinsuwa ya Tubeere Balamu ebasobozesa okufuna empeereza z’obujjanjabi okwetoolola Amasaza gonna. Enteekateeka eno eyanjuddwa eri Bannakibuga abakolera mu kikuubo era ne bagyaniriza n’essanyu.

Ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek. Christopher Bwanika era nga atuula ku bboodi ya Kabaka Foundation y’akulembeddemu omukolo guno era akunze bannakibuga okweyunga ku yinsuwa eno olw’empeereza ezirubirira okukuuma abantu ba Kabaka nga balamu n’okutaasa abantu abalemererwa okufuna obujjanjabi obulungi olw’ebbula ly’ensimbi mu kiseera eky’obulwadde nga bubalumbye.

“Tubeere balamu Yinsuwa ezze okumalawo okukaluubirizibwa mu kufuna obujjanjabi olw’ebisale ebibasabibwa mu malwaliro kuba buli muntu gyali akaaba ensangi zino, abantu batuuse n’okusinga ebyapa mu malwaliro ate abalala batunda n’ebyabwe kale olwa leero nsaba munnegatteko mufuuke ababaka nga mutegeeza abalala ku yinsuwa eno” Oweek Bwanika.

Oweek Bwanika ajjukiza bannakibuga ku bulwadde bwa mukenenya nti bukyaliwo mu Ggwanga, era abasabye okwekuuma butiribiri nga basobole okubeera n’obulamu obweyagaza n’okwekumira ku ntikko mu mirimu gyabwe.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala annyonyodde nti okusinziira ku alipoota ze bazze bawandiika okuva mu nsiisira z’ebyobulamu mu masaza, ekitongole kyasalawo okuteekerateekera abantu ba Kabaka Yinsuwa ey’ebeeyi ensaamusaamu olw’obwetaavu bwe balaba mu masaza ge bakatambulako mu kaweefube wa Tubeere Balamu. Ono alaze obwenyamivu olw’abantu okwesulirayo ogwanagamba ku byobulamu bwabwe nga bawoza nti tebalina nsimbi ekiviiriddeko bangi okufa. Ategeezeza nti wano Kabaka Foundation kwe kukwatagana ne Jubilee Life Insurance okuwa abantu insurance ku beeyi ensaamusaamu.

John Katende okuva mu Jubilee Life Insurance anyonyodde nti bbo baakwongera okutambuza emirimu gyabwe mu ngeri ennungamu era nga bakolagana bulungi n’amalwaliro abalwadde mwe babasindika okulaba nti bafuna obujjanjabi obusaanidde olwo abantu bakole emirimu nga tebaliimu nkenyera wadde.

Dr. Frank Ndugga, akulira ekitongole ky’ebyobulamu mu Ssaza Kyaddondo era omutandisi wa Peoples Medical Hospital, anyonyodde nti abantu abasinga batambula n’endwadde ez’enjawulo olw’obutasobola bisale bya malwaliro ebyapaluuka, kale ye nga omusawo amanyi nti wakiri enkola ya yinsuwa eno ejja kukendeeza ku muwendo gw’abantu abalwala ne bateyanjula mu malwaliro mu budde.

Ku mukolo gwe gumu waddewo okujjanjaba n’okugema bannakibuga endwadde ez’enjawulo ku bwerere era Kabaka Foundation esuubiza okutalaaga eggombolola zonna ezikola essaza Kyaddondo mu bbanga erijja okulaba nti tewali asigalira mabega mu nteekateeka eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.