Bya Miiro Shafik
Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga akangudde ku ddoboozi olw’abantu abeefunyiridde okuvumirira, okujerega n’okunafuya obuwangwa n’eddiini z’abalala. Asinzidde mu Bulange e Mmengo.
“Waliwo abantu abasuula obuvunaanyizibwa ku nsonga z’eddiini, bye batamanyi mu ddiini ezitali zaabwe babifuula bya kusekerera, bya kusaagiramu, bya kujereegera, n’okuvumirira oluusi n’okubumira ddala” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga agamba nti Abakristo bamanyi eddiini yaabwe nga bw’ebayigirizibwa kuva buto, n’Abasiraamu bamanyi eddiini yaabwe era nga bw’ebasomebwa kuva mu buto, kino ne kitegeeza nti buli omu amaanyi bimusomeseddwa era eby’abalala bimulema okutegeera kubanga teyabisoma.

“Omubatize amanyi amakulu g’amasakalamentu, omusiraamu tegamukwatako kubanga tagamanyi, omusiraamu tamanyi bya Kristo kubeera mutwe gwa kkanisa kuba tebyamusomesebwa mu ngeri y’emu omubatize empagi ettaano ez’obusiraamu tazimanyi, baganda bange ne bannyinaze, entalo z’eddiini zaliyo edda era zaggwa” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti Abatume babatta nnyo nga batambula mu Nsi ez’enjawulo nga batambuza enjiri, awadde eky’okulabirako ekirala eky’ensi nga Spain eyali ku musingi gw’obusiraamu naye kati nga Nsi nkatoliki oluvannyuma lw’entalo z’eddiini, ayongedde n’alambulula ku ntalo z’amaddiini ezaali mu Uganda wano ku mulembe gwa Kabaka Mwanga, ebiseera by’Omulangira Nuuhu Mbogo, entalo z’Abajungute n’endala, ategeezeza nti bino byonna byaggwa, ku mulembe Omutebi abantu balina kusoosowaza buvunaanyizibwa nga buli muntu ayagala omulala ekyo ky’akkiriza awatali kuvuma oba kujerega.
“Mbakubiriza nga nze mukulu wammwe, okwewala okuvumirira byemutamanyi, nina Abasiraamu benkola nabo bagenda e Mecca buli mwaka mu kisiibo, simanyi kyebakolayo, naye mbasiibula bulungi era mbaaniriza bulungi nga bakomyewo, bandeetera n’ebirabo bye baŋŋamba nti bitukuvu okuva e Mecca era ne nsanyuka. Abasiraamu be bamu abo tubeera nabo mu kelezia ku mikolo egy’enjawulo, nze bweŋŋenda okusembera, bbo basigala batudde mu ntebe era tebategeera lwaki abagenze okusembera beewombeeka ne mu kudda, tebamanyi, naye bwe tufuluma nga tudda mu byaffe, ogwo gwe mwoyo gw’omuntu ow’obuvunanyizibwa, era mbasaba mulekere awo okwevuma n’okweyogerera ebisongovu olw’ensonga z’eddiini” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro Mayiga agamba nti eddiini zonna eziriwo n’obuwangwa, abantu bye bakkiririzaamu Katonda abimanyi era tewalina kubaawo muntu yenna ategeerera Katonda, kubanga ye abantu bonna abali mu Nsi abamanyi era tewali alina kumulwanira ntalo.









