Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okutegeera amakulu g’ekigambo buvunayizibwa naddala mu kukuuma Obuwangwa bwabwe.
Katikkiro asinzidde mu Bulange e Mengo bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka abavudde mu ggombolola; Mumyuka Mpenja, Ssaabaddu Maddu, Ssaabawaali Kyegonza, Ssaabagabo Kabulasoke, Ssaabawaali Kaliiro, Mumyuka Nakifuma, Mut. IV Mukulu wa Kibuga Mmengo, Musaale Busukuma, n’amasomero ag’enjawulo.

“Bwetunaaba ab’okuzza Buganda ku Ntikko tulina okutegeera amakulu g’ekigambo BUVUNAANYIZIBWA, tulina okuba n’obuvunanyizibwa mu maka, ne mu nsonga eziwanirira Obwakabaka” Owek. Mayiga
Katikkiro agamba nti ennaku zino abantu bangi basudde obuvunaanyizibwa ku nsonga z’Obuwangwa n’ennono nga bakubiriza abantu abava mu Kika ekimu okuwasangana, agamba abakola bino baagala kukutula bantu ku Ssaabasajja Kabaka kubanga obuwangwa bwe bugatta abantu ba Buganda bonna ku Kabaka.

“Kintu bwe yaleeta enkola ey’Ebika emyaka lukumi emabega, yamala kulaba akabi akali mu b’omusaayi oguliraaniganye okuwasangana, ng’omuntu atalaba bulungi bw’awasa omulala atalaba bulungi bamaliriza bazadde muzibe, bino eby’Ekika birimu ne ssaayansi era Abachwezi okuwasaŋŋana kwe kwabamalawo bwe baalwala endwadde ne zibamalawo, wano mu Buganda tulina obuko, tulina, tukola emikolo egy’Embaga, twabya ennyimbe bassenga ne bakojja bakola obuvunaanyizibwa ku baana ba bannyinaabwe, basssebo ne bannyabo obwo bwe buwangwa bwaffe, obuwangwa ke kalambe kaffe era ye ndagamuntu efuula Kabaka Kitaffe wano mu Buganda” Katikkiro Mayiga.
“Tuzze tubanyonnyola nti enkola ey’Oluwalo yaffe yadda nnyo wano mu Buganda era nga oggyeko ensimbi ze muleeta, oluwalo lutulaga ng’abantu abalina obuvunaanyizibwa ku nsonga zaabwe, toyinza kuyaayanira kintu ate n’otakirabirira, Omuganda yenna alina okulabirira Obwakabaka bwe, kale mbeebaza olw’obujjumbize mu nkola ya Luwalo Lwaffe” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro asanyukidde enkola y’okuleeta abaana abato mu Luwalo n’ategeeza nti kino kyongera okubayigiriza obuvunaanyizibwa buli muntu bw’alina ku Kabaka n’Obwakabaka okutwaliza awamu. Wano era ayogedde ku basajja n’abakazi abasuulawo obuvunaanyizibwa bw’abaana baabwe ne badda mu kukyakala, bano abasabye okweddako ku mbeera eno.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki, ku mukolo guno yebazizza abakiise Embuga leero n’akubiriza abantu ba Buganda okujjumbira okulonda kwa bassentebe b’ebyalo mu Gavumenti eya wakati.
Abaami ab’eggombolola baloopye ensonga ez’enjawulo Embuga omuli okusaba wabeewo emisomo egyongerwa mu bantu ba Kabaka mu byalo egikwata ku by’ettaka, obweggassi n’ensonga endala. Eggombolola zonna omugatte zikiise n’oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 139.









