
Bya Jjuuko Huzairu Wasajja
Kakeeka – Kyaddondo
Olukiiko olukulembeze olw’abayizi b’ettendekero li Buganda Royal Institute wamu n’olukiiko olukulembera abayizi abegattira mu kibiina kya Baganda nkobazambogo mu ttendekero eryo, lutongozeddwa.
Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba, yakulembeddemu omukolo guno ng’akiikiridde Owek. Anthony Wamala. Asinzidde wano n’akuutira abakulembeze bano obutakulembeza bizibu mu bukulembeze bwabwe, wabula bafeeyo nnyo okunoonya empenda ezivvunuka ebizibu.
“Omukulembeze tokulembeza bizibu era ku mutendera gwe muliko ogw’abayizi bw’oba ogenda ewa ssenkulu, tugeze waliwo okusoomoozebwa, gendayo n’amakubo agayinza okukuyamba okuvvuunuka ekizibu ekyo, newankubadde ebizibu webiri naye tuleke kubikulembeza Omukulembeze omutuufu talina kuba na byekwaso ku buli nsonga” Minisita Kiyimba.
Minisita Kiyimba ayongedde n’akuutira abakulembeze bano ekwekkiririzaamu nti okwekkiririzaamu kintu kikulu nnyo era wano we yebalizza Omukulembeze awumudde Mfutumkiiza Joel abadde omukubiriza w’olukiiko oluwumudde, nga ono alese awandiise akatabo ke yatuumye “BELIEVE, BEGIN AND BECOME” nga kano yakawandiise okusobola okuzzaamu abakulembeze essuubi n’okwekkirirzaamu.
Minisita ayongedde n’abakuutira okubeera abeesigwa wamu n’okubeera abeesimbu mu bukulembeze buno bwe bazzeemu.
“Abakulembeze bangi bwe batuuka mu bukulembeze bakyuka ne bafuuka ekitagasa ate nga obukulembeze butuyamba kwoleka ekyo kyetuli, okubeera omwesigwa ebyo byona bitambula n’abakulembeze, Omukulembeze oteekwa okubeera omwerufu kubanga omulembe Omutebi gwe tulimu gwa bwerufu, mwewale okukolera ebintu wansi w’emmmeeza nga bakama bammwe tebabimanyi kijja kubayamba okutambulira awamu” Minisita Kiyimba.
Oweekitiibwa era akubirizza abakulembeze bano l, nti wadde bafunye obukulembeze naye baleme kwelabira ekyo ekyabaleeta mu ssomero nti kubanga obukulembeze bwo butuuka ne buggwawo, naye ensi yo esigala ekyagenda mu maaso, Minisita abajjukiza ku nteekateeka y’obwakabaka eya situla omutindo era n’abakubiriza okugijjumbira n’okuginnyikiza mu byonna bye bakola.
Ssenkulu w’ettendekero lino Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu, asibiridde abakulembeze abawumudde entanda, nti wadde obukulembeze buweddewo naye webali bafunye obukugu obumala mw’ebyo bye basomye era n’abasaba obuteetulako bagende bakole ebyo ebibatendekeddwa.
“Tubebaza nti bwe mwajja mu ttendekero mwasalawo okusoma amasomo agenjawulo era ne musoma obukugu obwenjawulo, obukugu obwo tubasaba mu bunyweze, obukulembeze ssi bukugu wabula buba buweereza naye buli obukugu bwevbugenda okukuyamba nti obukulembeze ne bwebuba buweddewo, obukugu osigala nabwo era n’osigala nga otambula n’obulamu mu nsi, munyweze emirimu gye musomye era mugende mugikole wabula tubasaba obutatuswaza mwolese obukugu bwe mujje mu ttendekero lya Ssaabasajja Kabaka” Owek. Balikuddembe.

Ssenkulu era akuutidde abakulembeze bano okusingira ddala bannankobazambogo, okusiiga ekifaananyi ky’Obwakabaka mu ttendekero lino nga bayita mu nkola yabwe ey’emirimu.
Olukiiko olupya nga lukulemberwa Omukyala Nnambatya Reachel Ndagaano (Guild President) lwe lwanjuddwa akakiiko akakulira eby’okulonda mu ttendekero lino nga kakiikiriddwa omulongo Kato Peter Muwonge, lukubye ebirayiro wakati mu lujjudde lw’abayizi, abasomesa n’abamu ku bazadde b’abakulembeze bano era ne beyama okukulembera bannaabwe n’obwesimbu wamu n’okutuusa ensonga zaabwe eri be kikwatako.
Ate ddwoolukiiko oluwumudde nga lubadde lukulemberwa Polikapo Kawooya, bategezezza nti basanyufu bya nsusso kubanga basobodde okutuukiriza ebyo ebyabasuubirwamu wadde nga ebisoomooza nabyo bibaddewo, bano beebazizza abakulu abakulira ettendekero olw’omutima omuzadde gwe babalaze mu bukulembeze bwabwe.
Omukolo guno guyindidde ku ttendekero lya Buganda Royal Institute Kakeeka Mengo nga era gwetabiddwako abasomesa mu ttendekero lino, abayizi, abamu ku bazadde babayizi, Olukiiko oluwumudde wamu n’olukiiko lw’abakurembeze abapya.









