• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Luwalo kabonero ka bumu – Minisita Mariam Nkalubo

Gambuuze by Gambuuze
June 30, 2026
in Amawulire
0 0
0
Luwalo kabonero ka bumu – Minisita Mariam Nkalubo
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Abantu ba Kabaka bakubiriziddwa okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enkulaakulana ezireeteddwa mu bitundu byabwe okugoba obwavu.

Bw’abadde atikkula oluwalo oluleeteddwa embuga okuva mu Ggombolola ez’enjawulo mu Ssaza Kkooki, Minisita wa Bulungibwansi, Butondebwansi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, agambye nti oluwalo si ssente zokka wabula kabonero akalaga obwesige, obumu n’okwagala eri Obwakabaka era ensimbi ezireetebwa ziyambako nnyo Obwakabaka okutambuza emirimu gy’abwo okugaziya empeereza n’okukuuma obuwangwa.

“Buli muntu bwavaayo neyenyigira mu kuwayo oluwalo, Obwakabaka bwongera okunywera, eno y’ensonga lwaki tukubiriza abantu bonna okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ezitali zimu”, Minisita Mariam Mayanja, bano era abakuutidde okukuuma obutonde okusingira ddala ku nnyanja ya Kijjanabalola e Kkooki wamu n’okusimba emiti, bagirabirire kubanga giyamba ku mbeera y’obudde ereeta enkuba mu bitundu bye babeeramu.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki yebazizza abakiise embuga okuba abamalirivu mu kwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka nti kano kabonero ak’enkukunala akooleka okuwangula abo abasekeeterera Obwakabaka.

Omwami wa Kabaka amulamulirako Ggombolola Mutuba II Kifamba Mw. Ssenkaayi Simon, asabye Kamalabyonna okubalambulako mu Ssaza Kkooki olw’ennyonta eri mu bantu nga kino kya kusikiriza abantu ab’enjawulo okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna.

Ggombolola nga bwezikoze okuva mu Ssaza Kkooki; Mutuba I Kyalulangira 1,120,000, Mutuba II Kifamba 800,000 ne Ssaabaddu Lwamaggwa 2, 600, 000.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist