Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Omukolo gw’okujjukira amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 33, gwa kukwatibwa ku ttabi lya Watoto e Bweyogerere.
Kino kisaliddwawo mu lukiiko oluvannyuma lw’okwekenneenya ensonga ez’enjawulo ezatuukibwako ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno akakiiko akateesiteesi bwe kaalambula ebifo bibiri ebyasoosowazibwa aba Watoto ministries okutegekeramu omukolo guno okuli; Watoto ettabi ly’e Bweyogerere, n’ettabi ly’e Kyengera.

Ebyazuulibwa byaweerezebwa butereevu eri Kamalabyonna okusemba ebyo akakiiko bye kaalaba, bw’atyo Katikkiro n’akkiriziganya n’akakiiko omukolo gubeere Bweyogerere.
Okusinziira ku Ssentebe w’akakiiko kano, era Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ategeezezza nti ebifo bino byateekebwateekebwa bulungi naye ettabi ly’e Bweyogerere lya nkizo ku ttabi ly’e Kyengera olw’omutindo ogw’ekifo kino ogutambulira ku mulembe Omutebi.
Minisita Kawuki asinzidde mu lutuula lw’akakiiko akateesiteesi olutudde mu Bulange olwetabiddwamu olukiiko oluteesiteesi ku ludda lwa Watoto olukulemberwa Dr. Jeff Ssebuyira, n’akubiriza Obuganda okujjumbira enteekateeka z’amatikkira ate n’okujja mu bungi nga 31 Kasambula ku ntikko y’omukolo gw’amatikkira e Bweyogerere.









