• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Embuga ya Kisekwa eyanjuliddwa Kajubi omutuufu

Gambuuze by Gambuuze
June 24, 2026
in Amawulire
0 0
0
Embuga ya Kisekwa eyanjuliddwa Kajubi omutuufu
0
SHARES
200
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Huzairu Jjuuko Wasajja

Mmengo – Kyaddondo

Olukiiko lw’eddiiro lya Katikkiro (Embuga ya Kisekwa) lwanjuliddwa Omutaka Kajubi omutuufu era ng’ono okusinziira ku nnono ezirungamya obukulembeze mu Kika ky’Enseenene y’abeera Katikkiro w’Ekika. Ayanjuddwa ye Mutaka Mulindwa Paul Kironde Katimpa.

Jjajja w’Ekika Sserebe Charles y’ayanjudde Omutaka Mulindwa Paul eri olukiiko era n’ategeeza nti ye yamusumika oluvannyuma lw’emituba 4 egikola essiga lya Kajubi e Bujubi okumwanjula nti ye Kajubi omutuufu.

“Kajubi ono mutabani w’omugenzi Mulindwa Robert Ssaabaddu Wawonye Ssewanyana agalamidde e Bujubya Bulemeezi, muzzukulu wa Yokana Katumwa, muzzukulu wa Kalaba Entakera Jjolyabalam, muzzukulu wa Kezironi Bazannye, era muzzukulu wa Puliti Lule ddala” Jjajja Sserebe alambuludde ebikwata ku Mulindwa Paul.

Jjajja Sserebe ategeezeza nti Kajubi ono musajja wa Kabaka ategeera obulungi, aweza egy’obukulu 58, mufumbo era alina amaka ge mu Kitti e Matugga. Ono mu kwanjula Kajubi ono eri Embuga, amukuutidde obuntubulamu n’okuwa ennono ekitiibwa mu bukulembeze bw’aweereddwa okusobola okugatta ku kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko.

Kisekwa Dr. Ssonko Robert Kanakuloopa aweerezza ebbaluwa eri ab’Ekika ky’Enseenene mw’ategeerezza nti olunaku luno lwaweebwa Abataka abemituba n’Abataka abalala ab’enkizo mu ssiga lino erya Kajubi e Bujubi mu Busujju okwanjulirako Omutaka era alambuludde kino we kyava.

“Ensonga eno yatuukibwako oluvannyuma lw’eddiiro lya Katikkiro lino okuwa entaputa ku nnamula zino; ey’olukiiko lw’oku Micwa II eya 1920, eya Ssekabaka Daudi Ccwa II eya 1920 n’eya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II eya 2005. Ennamula zino zonna essatu zikwata ku bukulu bwa Kika Kya Nseenene obw’Akasolya.” Kisekwa Dr. Ssonko.

Kisekwa agamba nti embuga ye mu kulungamya kwayo ku nnamula ezo okwa nga 02/06/2026, yalaga nti Kajubi omutuufu era ow’ennono, y’oyo ali mu nsikirano esimbye ku Puliti Lule Kajubi, Ayongeddeko nti ennono egamba nti, Owessiga Kajubi mu Kika kino eky’Enseenene, era y’abeera Katikkiro waakyo wano abasabye okufaayo okukuuma ennono eyo obutiribiri era n’okuginyweza gguluggulu.

Kisekwa yebazizza abataka abakoze omulimo ogw’ettendo nebagumaliriza mu kiseera ekyaweebwa embuga eno okwanjuliramu omutaka Kajubi.

Ye Omutaka Kajubi mu kwogera kwe yebazizza Katonda olw’ekkula lino ly’atuuseko era wano akunze Abaseenene bonna gye bali okuvaayo beegatte okusobola okutambuza Ekika kyabwe. Omutaka ategeezezza nti byonna ebikoleddwa tebigenderedde kwawulayawula mu kika, wabula kubadde kuzzaawo ennono y’Ekika nga bw’erina okutambula.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.