• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro alabudde bannabyabufuzi ku bukuubagano

Gambuuze by Gambuuze
June 23, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro alabudde bannabyabufuzi ku bukuubagano
0
SHARES
2
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi okukulembeza omutima gw’okusonyiwagana olwo eggwanga liwone obukuubagano obuva ku by’obufuzi.

Bino bibadde mu bubaka bw’atisse Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke bw’abadde atikkula oluwalo olusoba mu bukadde 29 oluvudde mu masaza; Butambala, Kyaggwe ne Buddu agakiise Embuga olwa leero.

Katikkiro akkaatirizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eid-Adhuha mweyasoosowaza ensonga y’okusonyiwagana mu bannabyabufuzi nga kino kiva ku kalulu ka bonna eggwanga lye kakavaamu nga kino kireeta okweyawulayawula mu bantu ba Kabaka.

“Ssaabasajja Kabaka mu bubaka bwe obwa Eid-Adhuha yasanyukira nnyo abantu abaali bava mu kulamaga era yategeeza nti ensi ezikulaakulanye zikulembeza nnyo ensonga y’okusonyiwagana, era yavumirira obulyake n’omululu oguli mu bannabyabufuzi ensangi zino n’abasaba okwegomba ensi ezikulaakulanye bwezitambuzaamu emirimu ,” Oweek. Kitooke bw’ategeezezza.

Ku lulwe, Oweek. Kazibwe agamba nti mu pulogulamu y’okusitula omutindo, Obwakabaka butunuulidde nnyo ekirime ky’emmwanyi era busaba abalimi bonna okukyongerako omutindo nga bagoberera amakubo amatuufu agalambikiddwa okutuusa lwe kikula. Emmwanyi eteereddwako omutindo, omulimi asobolera ddala okufunamu ensimbi ezimuyamba okugonjoola ensonga z’ebyobulamu, eby’enjigiriza, amaka amalungi, okukulaakulanya ebitone n’ebintu ebirala ebigendereddwamu okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka.

Minisita Israel Kazibwe Kitooke akiikiridde Katikkiro

Oweek. Kazibwe abategeezezza ku matikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 33 agagenda okukuzibwa ku kkanisa ya Watoto n’abasaba okugoberera enteekateeka zonna okusobola okuggyayo ekitiibwa kya Nnamulondo.

Ku lwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, Omwami w’Essaza Butambala, Katambala Oweek. Hajj Sulaiman Magala, yeebazizza nnyo enteekateeka y’okuleeta abaana abato mu nteekateeka y’Oluwalo kubanga kibayambako okulabira ku bantu abakulu engeri gye baweerezaamu Kabaka waabwe.

Omubaka w’e Butambala mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Hon. Eriasa Mukiibi Sserunjogi yeebaziza nnyo enteekateeka z’Obwakabaka olukuba nti obukulembeze bw’Obwakabaka tebuyugayuga busigala bulaga abantu ba Ssaabasajja Kabaka eky’okukola era yeyamye okusigala nga ali ku mulamwa nga okwenyigira mu Mwanyi Terimba. Asabye Obwakabaka okuyambako bannabyabufuzi ab’enjuyi zonna okubatuuza okugonjola ebibasomooza olwo lwebanatuuka ku buwanguzi.

Oluwalo luno lwetabiddwako abakiise mu Lukiiko lwa Buganda; Oweek. Ssettaala Samuel, Oweek. Jalia Sseguya, Oweek. Aisha Nabwami, amasomero okuva mu masaza gano, bannalulungi okuva e Kyaddondo, Butambala ne Kyaggwe n’abantu ab’enjawulo.

Ggombolola okuva mu Masaza ag’enjawulo zikoze bweziti; Butambala; Ssaabaddu Ngando 3,000,000, Ssaabawaali Bulo 5,510,000, Buddu; Mutuba VIII Kasaali 7,000,000, Mutuba IX Kabira 3,472,000, Kyaggwe; Musaale Nagojje 3,000,000, Mutuba IV Kawuga 7,894,000. Omugate 29,876,000.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.