Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuva mu Ssaza Ssingo batudde okusala entotto ku butya bwe basobola okutambulira awamu okuweereza abantu ba Kabaka mu Ssaza lino.

Ensisinkano ebadde mu kakkalabizo lya Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ku Bulange e Mmengo.
Ensisinkano yetabiddwamu; Mukwenda Oweek Deogratious Kagimu n’omumyuka we owokusatu Stephen Jjumba, ababaka ba Paalamenti okuli; Hon. Francis Zaake, Hon. Kefa Kiwanuka, Hon. Bisaso Abdul, Ssentebe wa Kassanda District Ssembuusi Drake Ssemuyaba n’abalala.
Bw’abadde awayamu n’abakulembeze bano, Minisita Joseph Kawuki abasabye bafeeyo okukolera abantu era bwekituuka ku nsonga ezibakwatako omuli, emisolo, eby’enjigiriza, eby’obulamu, abakulembeze bano baleme kwekkiriranya.
Minisita Kawuki abategeezezza nga bwe bakwatibwako obutereevu okutegeera ensonga za Buganda n’okulondoola ebyo Buganda by’ebanja gavumenti ya wakati omuli eby’ettaka, ne federo, ate n’okussaawo empuliziganya eyanamaddala n’Omwami w’essaza Mukwenda, okwenyigira mu nteekateeka z’Essaza n’Obwakabaka, okwetaba ku mikolo gy’Essaza, n’okumanya ebiruma banna Ssingo kuba be bantu be bakulembera.
Oweekitiibwa Joseph Kawuki agamba nti, omubaka wa Paalamenti bwawagira emirimu gy’Essaza, kimwongera ettutumu n’obuwagizi mu bantu, n’obuvumu okubaako ensonga zannyonnyola abantu nga teyeesigamye ku kibiina kye eky’ebyobufuzi wabula yetengeredde nga omuntu.
Mu nsisinkano eno, Oweek Joseph Kawuki mw’asinzidde n’ayanjulira abakulembeze bano enteekateeka y’okuzimba bbugwe ku mbuga ye Ssaza Ssingo era n’abasaba okwenyigiramu.
Mu nteekateeka ya tiimu y’Essaza Ssingo, Minisita Kawuki abakubirizza okubeera ekitundu ku nteekateeka z’okuyimirizaawo tiimu eno olwo Ssingo esobole okufuna obuwanguzi mu mpaka z’omwaka guno.
Omwami w’Essaza Ssingo, Mukwenda, Oweek Deogratious Kagimu, asanyukidde enteekateeka y’okutuula nga abakulembeze b’e Ssingo n’agamba nti enkola eno yakuleetawo obwa sseruganda mu kuweereza abantu ba Kabaka n’akinogaanya nti obwa sseruganda kintu kikulu nnyo mu buweereza.
Mukwenda yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusoosowaza Ssingo mu nteekateeka ezitali zimu, omuli; Ssingo erina amasomero ga nassale asatu ekitali mu masaza malala, eddwaliro lya Busimbi n’ebirala, wabula Mukwenda agamba nti obuweereza obutuukira ddala ku bantu mu bitundu by’abwe busaana okukwatira awamu nga abakulembeze basobole okuleetawo enkyukakyuka mu bulamu bw’Abantu ba Buganda.
Ku lw’abakulembeze abalonde, Hon. Keefa Kiwanuka, beebazizza Minisita Kawuki olw’okubaleeta awamu ekintu ky’agambye nti kya kubanguyiza mu kutuusa empeereza ey’omulembe eri abantu bw’atyo n’asaba obukulembeze bw’Essaza Ssingo okubalungamya ku nsonga ezitali zimu kibasobozese okutambulira awamu mu kuggusa emirimu gy’Obwakabaka olwo Buganda edde ku ntikko.
Omubaka Keefa Kiwanuka, yekkokkodde enneeyisa ya Poliisi erimu kyekubiira mu nkwata y’ensonga eziruma abantu, n’agamba nti bano be bavuddeko entalo naddala ezeekuusa ku ttaka ezitaggwa, nga Poliisi ekolagana n’abamenyi b’amateeka okunyigiriza oludda olutuufu era ekivuddemu kwe kuzingama kwa entambuza y’emirimu mu Ssingo.
Ssingo ya kuttunka ne Kabula e Mityana mu mupiira gwayo oguggulawo sizoni ku Sande eno.









