Bya Pauline Nannyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Empaka z’atamukutte ezeetabwamu abaluŋŋamya b’emikolo ez’omulundi ogw’okusatu zitongozedwa leero mu Bulange e Mmengo era abawanyi abawerera ddala 30 be bewandiisizza okuvuganya. Zino zaakumala ebbanga lya myezi ena nga zitojjera ku mayengo ga BBS terefayina.

Empaka z’Atamukute ziruubirira okwongera okubangula Abalungamya be mikolo mu Bwakabaka nga bamanya entambuza y’ennono entuufu ku mikolo gyonna egikolebwa mu Buganda kyokka nga kikolebwa mu nkola y’okubuuza ebibuuzo ebigwa mu kkowe eryo era nga abawanguzi bawrebwa ebirabo ebyenjawulo okuli ettaka, ente, emifaliso n’ebirala.
Minisita w’ebyemizanyo, abavubuka nebitone mu Bwakabaka Oweek Robert Serwanga Sswalongo y’atongozza empaka zino era akuutidde abawanyi okwongera okwagala okumanya kyokka nga tebesamba babaliranye ne bawanyi bannaabwe.
“Buli gw’olaba akusinga aba ne ky’akusinga okumanya era enjawulo y’okumanya okwo ekuleetera gwe okusereba kyokka ye ne yeyongerayo sso okuteekawo ensitaano y’obwongo kikulu nnyo okukebera okumanya kw’abantu abenjawulo” Minisita Serwanga bw’anyonyodde.
Minisita Serwanga asabye abawanyi obutanyooma bibuuzo bisengekedwa kubabuuzibwa mu mpaka zino kyokka naabo abanaazigoberera ku terefayina abasabye bafune obukodyo obwejawulo empaka ze bulubirira okubasomesa nga okulowooza amangu, okukwata obunkenke nga bafunye okutya, okugatta mu bwangu kale nga enteekateeka wenaggwera nga waliwo enjawulo.
Akulira entambuza y’emirimu ku BBS terefayina Steven Dunstan Busuulwa alaze nti ekiruubirirwa kya terefayina kwe kwongera okuyigiriza abalabi baayo kale nga pulogulamu nga eya Atamukutte okusobola okukyusa endaba y’ebintu n’okuyiga okwagala okuvuganya.
Ssentebe w’Abalungamya b’emikolo Isma Kajja alaze nti mumyaka esatu gye bakatambula n’omuzannyo guno waliwo enkyukakyuka mu nkola y’emirimu gya balungamya b’emikolo kyokka nga bagigaziyizza okuggya ebibuuzo mu mirimu gy’Obwakabaka gyonna.
Omuwanyi Matovu Julius okuva e Butambala alaze nti yasazeewo okwetaba mu mpaka zino nga atwala Buganda ku Ntikko nga ayita mu kutumbula olulimi nga alubirira n’okwongera ku bumanyi bwe era alaze nti ekyenjawulo ky’asinga ku bawanyi banne bwe bumanyi ku bika n’amasaza.

Omuwanyi Lumala David okuva e Kyaddondo alaze nti ye azze mu mpaka zino okusitula omutindo gwe nga omuntu ayolesa obumanyi bwe wamu n’okwongera okuyiga nga anonyereza okuvumbula ebintu ebipya ku ggwanga lye Buganda.
Okusoya ebibuuzo kutandika ku ssande nga 07 Ssebaaseka 2026.









