Tunyweze Obukulembeze bw’ekika ku buli mutendera okusobola okukuuma Namulondo.
Ebigambo bino byogeddwa Minisita w’eby’obuwangwa- Oweek. Dr. Anthony Wamala bw’abadde ku mukulo gw’okujaguza kw’Omutuba gwa Kaasa e Nabiteete mu Ssaza Mawokota.
Mu kwogera kwe, Oweek Dr. Anthony Wamala, akkaatirizza obukulu bw’okunyweza obukulembeze mu Bika ku buli mutendera Ebika obutasaanawo era ategeezezza nti olw’obukulu bw’ensonga eno, minisitule gy’akulembera ey’obuwangwa n’ennono, yatandika kaweefube w’okulambula obutaka bw’Ebika okulaba embeera gye bulimu n’okuteekateeka obukulembeze bw’Ebika ku mitendera gyonna okusobola okukuuma Nnamulondo.

Minisita Wamala agamba nti Bajjajjaffe, baasiba obukulembeze bwa mirundi ebiri obw’ekifundikwa n’obukozi bw’emirimu, wabula obukulembeze mu Bika ebisinga obungi, waggulu ku busolya bunywevu naye wansi waliyo obunafu era teri bukulembeze butegeerekeka. Ategeezezza nti obukulembeze bw’Ebika bwali bw’afuuka bwa mikolo okugeza; ennyimbe, naye ate nga waliwo obwetaavu bw’obukulembeze obwanganga ebisoomooza abazzukulu mu bika era nga bulina okuteekebwateekebwa obulungi.
Wano w’asinzidde n’asaba ow’Omutuba Kaasa akole olukiiko olujjudde obulungi olukozi lw’emirimu olwo obukulembeze butambule bulungi.
Ow’Essiga Bakazirwendo Ssemandwa Jjajja w’Ekika ky’Engeye, akubirizza abazzukulu okukuuma obuwangwa bwabwe baleme kubufuula bwa by’anfuna, beewale okutunda ettaka ly’obutaka bw’omutuba basobole okusigaza webakungaanira mu nteekateeka z’omutuba gwabwe.
Kyobe Francis, ku lw’akuuma entebe ya Kayima, Hajji Hassan Kagga Kasujja, asabye ab’Omutuba gwa Kaasa okukumaakuma abazzukulu n’okubakubiriza okutuuza enkiiko mu nnyiriri zaabwe kyongere okuggumiza entambuza y’obuweereza mu Kika kyabwe e ky’Engeye. Asabye ow’Omutuba atuuziddwa, okuttukiza enkola y’okwalula abaana kiyambeko Ekika okufuna abazzukulu abatuufu omutali nsowole olwo n’emirerembe ku buzaale bw’omuntu gya kuggwawo.








