Bya Ssaava Kevins Kanyike
Obwakabaka busabye bannaddiini okwongera amaanyi mu kubuulira enjiri mu masomero kyongere okunnyikiza empisa mu bavubuka.

Bino bibadde mu bubaka bwa Katikkiro bw’atisse Kaggo Hajji Ahmed Matovu Magandaazi, omwami w’Essaza Kyaddondo, ku mukolo gw’okutuuza Omulabirizi wa Central Uganda Conference Omusumba Pr. Simwogerere David n’olukiiko lwe, ku kkanisa ya Kireka Seventh-day Adventists.
Kamalabyonna atenderezza omutindo n’empagi okwazimbibwa Kkanisa y’abadiventi nti era abeebazizza olw’okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka entakera, wabula abajjukizza nti balina omulimu gw’okunnyikiza empisa n’obuntubulamu mu bavubuka okusobola okutaasa ebiseera by’eggwanga eby’omumaaso.
Omukolo gwetabiddwako abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannabyabufuzi, ebibiina by’Abakyala n’abavubuka okuva mu kkanisa ezitali zimu eziri mu bulabirizi bwa Central Uganda Conference.









