Bya Jjuuko Huzairu Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko akubirizza abazadde mu kiseera kino eky’okuzza abaana mu masomero, bafube nga bwe basobola okulaba nga abaana baabwe tebatuula waka.
Minisita Nakate okwogera bino abadde akiikiridde Katikkiro mu kutikkula oluwalo lwa nsimbi wa Uganda 14,675,000/= okuva mu bantu ba Kabaka abavudde e Buddu ne bakiika Embuga mu Bulange e Mengo.
“Embeera y’ebyensimbi mu ggwanga ssi nnungi naye ekyo tekibamalaamu maanyi kubanga Ssaabasajja Kabaka yatandikawo ensawo ey’okuyamba ku baana abeetaavu eya Kabaka Education Fund ate egwa buteerevu mu woofiisi yange, mbasaba mwettanire enkola eno okusobola okusomesa abaana baleme kutuula waka olw’ebbula ly’ensimbi, okusomesa omwana kikulu nnyo era Katikkiro azze atuluŋŋamya nti okuweerera omwana ssi kwefiiriza wabula kkatala, n’olwekyo munyikire nnyo okusomesa emiti emito” Minisita Nakate.
Ono ayongeddeko nti Ssaabasajja Kabaka yasiima n’atandikawo amasomero g’amabujje mu masazza ag’enjawulo era kati Obwakabaka bulina amasomero ku buli mutendera, asabye abazadde okutwalayo abaana babangulwe ku mutindo ogusaanidde ate mu mbeera esoboka.
Minisita era ayongedde n’akubiriza abazadde okukola obutaweera okuzuula ebitone mu baana baabwe ng’akikaatiriza nti buli muntu Katonda yamuwa ekitone ekyenjawulo era wano w’asabidde abazadde okufaayo ku kuzuula ebitone mu baana omulimu baleme kugulekera basomesa bokka, ate era babayambeko okubikuza n’okubitumbula.
Minisita Nakate, Bannabuddu taleseeyo kubajjukizza nkola eya Situla Omutindo eyagungyibwawo Obwakabaka bwa Buganda, era abakubirizza okugijjumbira, abajjukiza ezimu ku nnyingo eziri mu nteekateeka eno okuli; obulimi, obusuubuzi, ebyobulamu, ebyenjigiriza, n’endala. Ategeezeza nti oyo anaasitula omutindo ajja kuba aggasse ku kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.
Omumyuka Owookubiri owa Pookino Hajj Siragye Ssesaazi yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima n’abawa ettaka erisoba mu yiika 130 mu ggombolola y’erwabenge nga kuno basobodde okusimbako emiti egy’enjawulo ekibayambye okwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu, ayongedde n’ategeeza nti enkola eya CBS PEWOSA SACCO eyambye nnyo abantu ba Kabaka mu Buddu okweterekera ensimbi zaabwe awamu n’okuzisiga, ekitumbudde enkulaakulana mu ssaza lino.

Eggombolola Mut. XI Bisaga Buddu ne Mut. X Kyamuliibwa ge gakiise embuga mu nkola eya tondeka mu luwalo nga era gakiise n’oluwalo lwa nsiimbi bukadde 14,675,000/=. Abaami b’eggombolola baloopye Embuga entambuza y’emirimu era bawaddeyo alipoota ezinnyonnyola ensonga ezitali zimu.









