Bya Miiro Shafik
Mmengo – Bulange
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye n’aweereza Obuganda obubaka bwa Eid Adhuha mw’asinzidde okulabula ku mululu n’okwegwanyiza buli kyabugagga ebirabikira mu bakulembeze ba Africa, by’agambye nti bye bimu ku nsonga eziviiriddeko enkulaakulana okusikattira mu nsi za Africa.
“Ensi naddala mu Africa, zitambula kasoobo mu by’enkulaakulana olw’obuteefumiitiriza n’okuyigira ku byaafaayo ensi ezo mwe ziba ziyise okutuuka we ziri. Omululu, obutassa kitiibwa mu ndowooza z’abantu, empalana n’obukyayi ye kanaaluzaala w’okusikattira mu kukulaakuna kw’ensi za Africa. Bino tusobola okubyewala singa twegomba mu bwesimbu olugendo lw’enkulaakulana olw’ensi endala. Tubasaba Eid eno tugikozese okusabira eggwanga likulaakulane era ng’abakulembeze bassa ekitiibwa mu nzikiriza, eddiini n’ebyobuwangwa by’abantu be bakulembera,” Kabaka Mutebi II.
Omuteregga agamba nti ensi ezituuse ku nkulaakulana eya nnamaddala zeesigamye ku bannansi baazo okwagala n’okukiririza mu bukulembeze bwe balina.
“Tusuubira nti bannaffe, abaalamaga bafunye okwolesebwa okulaga enkulaakulana y’abantu, okwagala eddiini n’ensi yaabwe. Ensi ezituuse ku nkulaakulana eya nnamaddala, zeesigamye ku bannansi baazo okwagala n’okukkiririza mu bukulembeze bwe balina. Obukulembeze obulimu okusonyiwagana, okussa ekitiibwa mu buwangwa bw’abantu n’obuteegwanyiza buli kyabugagga kya nsi, bwe buleeta emirembe n’essuubi mu bantu ne bakola awatali kwekengera,” Kabaka Mutebi II.
Maasomoogi yebazizza Allah atuusizza abaddu be ku lunaku lwa Eid Adhuha, n’asabira bonna abaalamaga olugendo olutukuvu olw’e Mecca ne Madina okumaliriza obulungi emikolo gy’enzikiriza y’Ekiyisiramu, n’okudda ku butaka obulungi era bafune omukisa gwa Allah.

“Tubaagaliza emirembe n’essanyu nga mujaguza olunaku lwa Eid Adhuha nga bwe mwebulirira ne ku bubaka n’okuyigiriza kw’Omutume Nabbi Muhammad okw’emirembe n’obumu era musigale nga mugoberera amateeka ga Allah” Ssaabasajja Mutebi II.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa eri Bannamawulire, Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke ng’asinziira mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga 26 Muzigo 2026.









