• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka busaasidde ba Ddamulira olw’okutikkirwa Maama

Gambuuze by Gambuuze
May 19, 2026
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka busaasidde ba Ddamulira olw’okutikkirwa Maama
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Namirembe – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubagizzaOmuk. Daniel Mukasa Ddamulira awamu n’Omuky. Canon Alice Ddamulira olw’okufiirwa Maama waabwe, Nnaalongo Mugerwa Robinah.

Obubaka bw’Obwakabaka obw’okusaasira busomeddwa Omumyuka Owookubri owa Katikkiro era Omuwanika Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde yetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Nnaalongo Mugerwa Robinah ng’ono maama w’Omuk. Can. Alice Ddamulira, okusaba kubadde mu Lutikko y’Omutukuvu Pawulo e Namirembe.

Katikkiro Mayiga mu bubaka buno asaasidde nnyo abooluganda n’abemikwano olw’okufa kw’omugenzi Robinah Mugerwa n’atendereza emirimu gy’akoze mu baana be b’agambye nti yabatendeka empisa ez’obuntubulamu.

“Omugenzi anajjukirwanga olw’omulimu omulungi gwe yakola ogw’okukuza abaana abalimu ensa, ab’obuvunanyizibwa ate abakozi. Kino kirabikira mu Canon Alice Ddamulira, SsaabasajjaKabaka gwe yasiima awereeze ku bboodi y’ekitongole ki Weerinde Insurance Brokerage. Services Ltd, Ate n’Omwami we, Omuk. Daniel Mukasa Ddamulira aweereza nga Ssentebe wa bboodi ya Mwanyi Terimba Limited” Kamalabyonna Mayiga.

Katikkiro agamba nti abantu ab’enjawulo basobodde okuganyulwa mu bukulembeze bwa banno bombi ku mitendera gyonna. Kamalabyonna akubirizza abazadde obutakoowa kusiga nsigo ey’embala mu baana baabwe kibasobozese okukola ebintu ebigasa eggwanga.

Ye Oweek. Robert Waggwa, ku lulwe, ayogedde ku mugenzi nga omuntu atabadde mutene olw’okuzaala Abalongo emirundi ebiri ky’ayise ekikolwa eky’obuzira mu bulamu bwe. Ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omumalirivu mu byonna by’akola.

Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Banja, y’akulembeddemu okusaba kuno, asabye abazadde okutwala ekyokulabirako ky’omugenzi n’agamba nti ensi eribanenya nga basuddewo obuvunanyizibwa bwabwe.

Abaana nga bakulembeddwamu Edward Ssebina Shem bebaziza nnyo maama waabwe olw’okubasabiranga agamba nti kino kibasobozeseza okutambulira mu nsi eno nga bakimanyi nti balina omuntu abafaako ennyo mu nsi.

Ate ye Omuk. Lady Can. Alice Ddamulira atendereza nnyo nnyina olw’okubakuza nga besigwa, bayigirize, baagala bannaabwe n’okwagaliza ekibafudde ab’omuwendo mu bantu be batambuliramu.

Banna-Rotary nga begattira mu disitulikiti ya 9214 bagamba nti omulamwa gwabwe gwa kutuusa buwereza mu bantu era baaiimye nnyo maama eyatendeka ennyo abaana be okubeera n’omutima omugabi.

Abaana abafumbirwa n’okuwasa mu famire y’omugenzi bakulembeddwamu Omuk. Daniel Mukasa Ddamulira bagamba nti ba mukisa okuzaalwa mu nnyumba eno era yennyumiriza nnyo mu nsigo ey’omuwendo gye yasiga mu baana be naddala ey’okusaba, obwesigwa, obuntubulamu n’okumanya kye baagala mu bulamu bwabwe.

Omugenzi yazaaliibwa nga 29 omwezi gwa Ntenvu 1946 nga ye mutandisi w’essomero lya Merryland Infant & Primary School e Kanyanya. Ebbanga lyonna abadde ayambako abazadde abasomoozebwa mu by’ensimbi olwo abaana baabwe ne basomera bwereere oba oluusi ne basasula ekitundu ku bisale by’essomero.

Okusabira omugenzi kwetabiddwamu bannaddiini bangi nnyo, Minisita w’Obulimi n’Obulunzi Oweek. Hajj Amisi Kakomo, Oweek. Ritah Namyalo Waggwa, Ssekiboobo Oweek. Vincent Matovu n‘Omumyuka we Oweek. Moses Ssenyonjo Kiyimba, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitoleko, abakungu ba Ssaabasajja Kabaka ab’enjawulo omuli; Omuk. Gerald Ddamulira, Omuk. Charles Kironde, Omuk. Jennifer Mirembe Ssensuwa n’abantu abalala bangi nnyo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.