Bya Samuel Stuart Jjingo
Entebbe – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okulwanyisa obwavu, obutasoma n’endwadde, by’agambye nti bye bibakuumira mu mbeera ey’okusabiriza.
Bino bibadde mu bubaka bw’atisse Omumyuka we Owookubiri era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde ku mukolo gw’okuggulawo ekitebe ekipya eky’Ekkanisa y’Abadiventi mu kibuga ky’e Entebbe awamu n’okikuwongayo mu mikono gya Mukama Katonda.

Kamalabyonna agamba nti Katonda yatonda abantu okumwagala n’okumutendereza olwo lwe bajja okulya ensi era akubiriza Abadiventi okukola ennyo emirimu gy’abwe n’omutindo nga bwe kikoleddwa ku kkanisa eno gye bazimbye ey’omutindo omulungi.
“Katonda yatutonda tumusinze; tumwagale; ate tulye n’ensi eno. Tumusaba asiime essinzizo lino, ate atusobozese okukola ennyo, tusobole okulya ensi eno mwe yatutondera. Ekirala, nnyongera okujjukiza abantu ba Kabaka mwenna okusitula omutindo nga bwe kikoleddwa wano, ne mu mirimu gyaffe eyo twongereko omutindo, tulwanyise obwavu, obutasoma, endwadde, obwassemugayaavu, n’ebirala ebitukuumira mu mbeera ey’okusabiriza,” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro yebazizza nnyo Abaadiventi olw’omutima gwe balaze okuzimba yeekalu eno era agamba nti okuweereza Katonda kabonero akooleka omuntu amutegedde ne bw’aba teyeyogeddeeko.
“Nnasanyuka nnyo bwe nnawulira nti Ekkanisa y’ Abadiventi e Ntebe, yazimbye yeekaalu empya okusinzizangamuOmutonzi; kirungi nnyo!Okuweereza Katonda kabonero akooleka omuntu ategedde Katonda, ne bw’aba teyeeyogeddeeko.Awo nno, njozaayoza buli muntu awaddeyo olw’omulimu guno amatiribona,” Mukuumaddamula.
Ssaabalabirizi w’Abadiventi mu Uganda Omusumba Samuel Kajoba nga y’akulembeddemu omukolo gw’okuwongayo ekkanisa eno yeebaziza nnyo Omusumba w’ekitebe kino Petero Nsereko Male olw’obugumu bwe okulumba omulimu omunene n’akulemberamu eddimu ly’okunonya ensimbi okuzimba ennyumba galikwoleeka eya Katonda era asabye Omutonzi okumuwa omukisa kubanga omulimu guno agukoze bulungi.
Ono asinzidde wano n’akubiriza abafumbo bonna okuyonja amaka gaabwe nga batandikira mu mitima gyabwe era kino kisikirize abantu abalala okubalabirako nabo badde eri Katonda waabwe olwo bafune ebirungi bye baluubirira okutuukako.

Ekitebe kino kituumiddwa “Seventh Day Adventist Church Entebbe Central District Headquarters” nga abagenyi ab’enjawulo beetabye ku mukolo guno okubadde Minisita w’Ensonga z’Obwapulezidenti Hon. Babirye Milly Babalanda, Omubaka omulonde owa Munisipaali y’Entebbe Hon. Shyaka Steven Gashaija nabalala bangi, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo n’Abakristo abalala bangi.









