Bya Musasi waffe
Olukiiko olunaateekateeka olunaku lw’abavubuka lutongozeddwa nga
lukulirwa Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu ng’amyukibwa Ssenkungu Paddy Kiganda. Bwabadde atongoza olukiiko luno, omumyuka wa Katikkiro asooka era nga ye Minisita w’eby’emirimu n’obuyiiya, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, agambye nti omulamwa g’olunaku luno gujjayo bulungi ebirowoozo by’abavubuka ku bwegassi n’okwekulaakulanya. Omulamwa gugamba nti, “Obwegassi ly’ekkubo ly’obugagga.”
Abalala abali ku lukiiko kuliko, Ssejjengo Baker, Ssebuyiira Sadam, Kiberu Frank ne Brian Namuyimba. Ate olukiiko olw’ebyensimbi kuliko ababaka bappalamenti, David Lukyamuzi Kalwanga ne Judith Nabakooba. Abalala kuliko Kiggudde Ann Namayanja ne Joseph Bitokote. Akakiiko k’ebyamawulire kuliko, Mayanja Allan, Nicholas Muguluma
Ne Musoke Patrick.