• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’Eggombolola bakubiriziddwa obutalagaya nga bakola emirimu gya Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
May 14, 2026
in Amawulire
0 0
0
Ab’Eggombolola bakubiriziddwa obutalagaya nga bakola emirimu gya Kabaka
0
SHARES
7
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Katwe – Kyaddondo

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asisinkanye Abaami ba Kabaka ab’eggombolola mu nsisinkano yaabwe eya buli mwaka mwe basinziira okwejjukanya, okwekubamu ttooci, n’okwezza obuggya okuwawula enkola yaabwe ey’emirimu era olukiiko omwaka guno lutuuziddwa ku Muganzirwazza e Katwe mu Kyaddondo.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki

Minisita Kawuki asinzidde eno ne yebaza Abaami ab’eggombolola emirimu gye bakola okukumaakuma abantu ba Kabaka n’abajjukiza nti mu kukuza olunaku lwa Gavumenti ez’Ebitundu omwaka oguwedde 2025 ku mukolo ogwali e Busukuma, Katikkiro Mayiga yategeeza nti bw’eba nnyumba, ab’eggombolola ge matoffaali agawanirira enju Buganda. Bwatyo abasabye okunyweza enju omuli abantu ba Buganda basobole okugyeyagaliramu.

Minisita Kawuki agamba nti eggwanga nga lyakava mu biseera ebyokulonda, Abaami ba Kabaka basuubirwa okukumaakuma abantu ba Buganda okweddaabulula naddala mu bitundu omwali embeera enzibu nga e Butambala, Mawogola n’awalala. Ategeezezza nti abantu ba Kabaka basaana okuzza emitima batabagane olwo emirimu mu Gavumenti ez’Ebitundu gisigale nga gitambula bulungi.

Minisita Kawuki akubirizza Abaami bano obuteetuumako mirimu bagigabanye mu nkiiko zaabwe, abamyuka baabwe babeere ne bye bakola, enkiiko z’eggombolola zituuzibwenga ate buli mmemba wa lukiiko akole obuvunaanyizibwa obumusuubirwamu. Abakuutidde okukoppa Katikkiro Mayiga gw’agambye nti bwe yakwasibwa ddamula yagabanya emirimu mu Baminisita ne bakola enteekateeka nnamutayiika erambika emirimu era kino kiyambye nnyo mu buweereza bwe obw’emyaka 13 nti n’embalirira ya Buganda gye yasanga ku buwumbi busatu kitundu kati nga eri mu buwumbi bisatu n’okusoba. Abasabye balondoole emirimu gyabo be bakola nabo gibeere nga gya mutindo.

Minisita Kawuki akubirizza ab’eggombolola okuzimba abavubuka n’okubateekateeka mu bukulembeze, bategeere eby’Obwakabaka nga bwe bitambula kubanga Buganda ey’enkya yesigamye ku bbo. Wano era asabye Abaami okutwala ekiseera bakyuse abali ku nkiiko nga tebakola bulungi mirimu, kyokka abasabye kino kikolebwe okuyita mu nkola ennungamu nga bwe balambikibwa mu ntambuza y’emirimu.

Minisita Kawuki taleseeyo kukubiriza baami ba Kabaka bano ku nteekateeka ya Situla Omutindo, akinnyikiza nti Obwakabaka mu nkola empya ayetongozeddwa busuubira okuba nti ejja kutandikira ku muntu asookerwako wansi okulaba nti buli muntu ky’akola ayongerako buli kiseera kyokka agamba nti kino kitandika na bakulembeze bennyini.

“Mulafuubanenga bassebo ne bannyabo okutambula nga mugenda mu maaso mu buli mbeera, okwefumiitiriza ku ntambuza y’emirimu nga buli w’oteeka ekigere tokizza mabega kubanga tuli mu lugendo lwa kuzza Buganda ku ntikko, tetwagala mwami asimbula kigere kimu mu maaso ate nga bw’adda emabega. Tulina kutambula nga tugenda mu maaso mu buli kye tukola, nga bwe tuzze tulaba mu Luwalo, luzze lulinnya era omwaka oguwedde obukadde mukaaga bwokka bwe bwabuzeeko okuweza obuwumbi bubiri mu nsimbi ezaavudde mu Luwalo, tutambule tutyo” Minisita Kawuki.

Minisita Kawuki agamba nti waliwo Abaami ba Kabaka abalabise nga baddirira mu nsimbi ze bakuganya mu Luwalo, abasabye okwerwanako obutaddirira bafube okuvuganya, balongoose Embuga z’eggombolola era basoosowoze enteekateeka zonna eziva Embuga olwo okwolesebwa kw’okuzza Buganda ku ntikko kunnyikire era kwongere okuvaamu ebibala.

Mu lukiiko luno Abaami b’eggombolola bafunye okwogera okuva eri ebitongole by’Obwakabaka eby’enjawulo okuli; Weerinde Insurance, Buganda Land Board, K2 Telecom, Namulondo Investments Ltd, Kabaka Foundation ne Kabaka Education Fund. Bano baliko bye balambise Abaami ba Kabaka ne babasaba okwongera okukunga abantu ba Buganda okwettanira empeereza z’ebitongole by’Obwakabaka n’okubituukirira ku nsonga zonna ezetaagisa.

Munnamateeka Denis Bugaya, omwogezi w’ekitongole ki Buganda Land Board ku lwa Ssenkulu w’ekitongole kino, alambuludde enteekateeka ez’enjawulo ze balina ng’ekitongole okukuuma ettaka mu Buganda era asabye Abaami ba Kabaka bulijjo okutuukiriranga ekitongole ku nsonga zonna ez’ettaka. Bano abawadde obweyamu nti ku nsonga zonna ezibatawanya mu bitundu byabwe ku ttaka ekitongole kyeteefuteefu okuzikolako. Ono asabye Abaami ba Kabaka nabo obuteesulirayo gwa nnagamba wabula bafube okukuuma ettaka lya Kabaka.

Abaami b’eggombolola bakubiriziddwa okweyuna enkola ya Yinsuwa eya Tubeere Balamu Yinsuwa, n’okukubiriza abantu ba Kabaka okugyettanira. Bano basabiddwa n’okunnyikiza enteekateeka z’ekitongole ki K2 Telecom mu bantu ba Kabaka n’okubakubiriza okugula ebintu ku kibanja ky’omutimbagano ekya Kibuga online.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.