Bya Tony Evans Ngabo
Gombe – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okwongera okwagazisa abaana ensonga z’Ebika byabwe.
Katikkiro obubaka buno abuttise Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa amukiikiridde ku mukolo ogw’okulaga omusika w’omugenzi Lydia Nakku Bakyusa ng’ono ye yali mukyala wa Ssenkulu w’ekitongole ki BUCADEF Omuk. Alfred Bakyusa. Omukolo gubadde mu maka g’Omukungu e Gombe mu ssaza Busiro.
Mu bubaka bwe, Katikkiro era akubirizza abakulembeze mu bika byonna okweyambisa abakugu abategeera obulungi ensonga z’ennono balambike abavubuka bwe bayinza okumanya ebikwata ku bika byabwe n’ensonga za nnamulondo.
Owek. Hajji Amisi Kakomo Minisita w’Obulimi, Obulunzi, Obusuubuzi, Obweggassi n’Obuvubi asinzidde wano ne yebaza Omuk. Bakyusa olw’okuwereza Obwakabaka nga teyebalira nga ne wakati mu bizibu by’ayitamu eby’okuviibwako omukyala ate era mu kiseera ekyekimu ne Maama we, asigala aweereza emirimu gy’Embuga.
Ye Omukungu Alfred Bakyusa yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okuyimirira awamu naye mu kiseera eky’omusoomoozebwa era avumiridde ekya bannayuganda abasekerera bannaabwe nga bali mu bizibu ky’agambye nti kyongerera ddala okunnyika omuntu n’alemwa okweddaabulula. Agamba nti omuntu ng’ayita mu kusoomoozebwa bw’abaako abayimirira naye, kimuyamba okutereera amangu n’okukola emirimu obulungi.

Emikolo gino gyakulembeddwamu ekitambiro kya mmisa eyakulembeddwa Rev. Fr. Emmanuel Tamale Chancellor w’essaza erya Kiyinda Mityana ng’ono yakubirizza Bannayuganda okwongera amaanyi mu kusabira eggwanga mu kisanja kino ekigenda okutandika.
Emikolo gino gyetabiddwako Abakungu abenjawulo omubadde, Owek. Isreal Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba n’abalala bangi.









