Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Olukiiko lwa Buganda lutudde, Obwakabaka bwa Buganda ne buwabula ku bigenda mu maaso mu ggwanga.
Nga eggwanga lyetegekera okufuna embalirira y’omwaka 2026/2027 gavumenti ya wakati yayanjulira paalamenti emisolo emigya okuli okwongeza omusolo ku mafuta, seminti, butto afumba, omwenge, sukaali, omusolo ku boda boda n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo.

Ku lw’Obwakabaka, Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu lukiiko lwa Buganda n’awabula ku misolo egyo naddala ku mafuta, ng’agamba nti emisolo gino gijja kukosa buli munnayuganda.
“Emisolo egigenda okwongezebwa mingi ddala kuba tegirina gwe gitaliza kuba mujja kulowooza gukosa balina bidduka naye buli omu gumukwatako kuba ebidduka binywa mafuta era ssente ze basaba bajja kuzongeza, kyokka emisolo ku sukaali, butto nagyo gigenda kulinnya era neraliikirira nnyo emisolo ku seminti kubanga okuzimba kintu kikulu kuba ensi yaffe ekyakula olw’okuzimba okugenda mu maaso kale nsaba omusolo ogukunganyizibwa gukole ebirabwako” Katikkiro bw’alambise.
Ku tteeka ly’obwetengereze bwa Uganda, Katikkiro alaze nti bweriyisibwa nga bweriri nga terikyusidwamu wajja kubaawo akatyabaga ku mirimu egikolebwa Obwakabaka omuli oluwalo, ssente ezizimba enzizi n’emirimu emirala egikolebwa mu ggwanga, anyonyodde nti obuwayiro bwalyo buyinza okussa eggwanga mu kattu k’ebyenfuna.
Katikkiro ku nsonga y’okulonda okwakaggwa alaze nti kwali kwa ntiisa nnyo olw’emivuyo egyalabibwa nga gitevunya nga munyeera, asabye abo abaakwatibwa olw’ebyobufuzi bateebwe kuba byaggwa ate n’obujjulizi obubaluma abasibe tebumatiza nga eky’okulabirako awadde kya Edward Ssebuufu amanyidwa nga Eddie Mutwe ateeberezebwa okubba akasimu.
Ku nsonga y’okutereeza ebibuga nga basenda obuyumba obutasaanidde ku nguudo, Katikkiro asabye gavumenti okulambika abantu ebifo we balina okukolera ne we batalina kukolera nga bagoberera olugero lwa ‘Konooweeka tokalinda kusaba ttaka’ nga babawa amateeka agabalambika ku ntambuza y’emirimu gyabwe basikirize n’abalambuzi okubagulako ebintu ebyenjawulo bye batunda nga ebibala.
Mu kisanja ekijja ekya 2026/2031 ekinaatera okutandika Kamalabyonna anokodeyo ensonga ssatu z’asabye gavumenti ya wakati okutambuliza emirimu gyayo okuli;

1.Okulwanyisa obuli bw’enguzi nga tebatidde muntu yenna ku liiso.
2.Okukuuma obutebenkevu mu ggwanga kuba emirembe bwe gibulawo abantu bekyawa sso bagoberere ssemateeka nga akwata butereevu ku buli muntu kyokka n’okukwatira abantu mu mmotoka ezimanyidwa nga ‘drone’ kukome, kuba kisoboka okukwasisa amateeka mu ngeri ennuŋŋamu
3. Ensonga y’ebyenfuna, Katikkiro asabye wakiri empeereza ennungi esookere mu bitundu omuli abantu abangi omuli amasanyalaze, amazzi, okukola enguudo ennungi kuba eby’obusuubuzi bitambulira ku nsonga ezo waggulu ate n’abantu abakola emirimu egivaamu enzimbi ezo basaana okulaba ebirungi ebiva mu musolo gwabwe.









