• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okuwandiika ebitabo ku bulamu bwabwe

Gambuuze by Gambuuze
May 1, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okuwandiika ebitabo ku bulamu bwabwe
0
SHARES
18
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kampala – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza buli muntu okuwandiika ku bulamu bw’ayiseemu kisobozese abalala okubayigirako basobole okuvvuunuka obuzibu obulamu.

Okwogera bino, Katikkiro asinzidde ku mukolo gw’okutongoza ekitabo eky’omuwendo ekiraga obulamu, obukulembeze n’okunoonya amakulu agali emabega w’obuwanguzi nga kituumiddwa ‘And then What?’ ekyawandiikiddwa Omuk. Francis Kamulegeya ku Sheraton Hotel.

Owoomumbuga agamba nti kisaanidde omuntu yenna mu bulamu okuwandiika ebintu b’yayiseemu mu bulamu bwe kisobozese abalala okumulabirako n’okufuna eky’okuyiga ku mbeera ze.

“Nkubirizza buli muntu okunonya ekitabo kino asobole okuyiga ku byo ebirimu. Ate era nkubiriza buli omu okuwandiika ku bulamu bwe, kubanga bye tuyitamu, amagezi gaffe n’obumanyirivu byetaagisa okusigala nga bisomesebwa abalala. Bw’otowandiika, weewala okuyigira ku by’oyitamu era n’ozibira n’abalala okuyiga ku ggwe.” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna yeebaziza nnyo Omuk. Kamulegeya olw’okuwandiika n’okugabana olugendo lwe n’obwesimbu obw’amaanyi, alaze nti okulaba mu mulembe guno abantu abalina amagezi nga basazeewo okugagabana ku bye bayitamu abantu abalala basobole okubiyigirako.

Katikkiro era ategezezza nti bwe yasomye ekitabo kino, yakwatiiddwako nnyo ku bwesimbu n’obuvumu Omuk. Kamulegeya bw’eyalaze ng’ayogera ku bulamu bwe era nti kisikiriza nnyo okulaba olugendo lwe okuva mu kyalo, n’atuuka okufuuka omukugu mu by’ensimbi, n’okuweereza mu mawanga ag’enjawulo nga Uganda, Kenya n’e Bungereza.

Ye Omuk. Francis Kamulegeya agamba nti yalina amaanyi mangi nnyo okubuulira ensi olugendo lw’obulamu bwe lwawaayo eri abaana be kubanga bafunye omukisa okukula n’abazadde baabwe bombi. Mukyala we, Sofia Kamulegeya atenderezza nnyo musajja we olw’amagezi Katonda ge yamuwa g’atakotogedde n’agakozesa okukwata n’okugagabana n’abalala.

Wabaddewo abakubaganyizza ebirowoozo ku ntambula y’obulamu bwa Omuk. Francis Kamulegeya omubadde; Oweek. Apollo Makubuya, Muky. Christo Kabajwala, Mw. Robert Kabushenga, Muky. Gloria Byamugisha ne Muky. Jackie Asiimwe. Omukolo gw’okutongoza ekitabo kino gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abantu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist