• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Embuga ya Kisekwa ewadde ensala ku gwa Kalindaluzzi mu Kika ky’Engeye

Gambuuze by Gambuuze
April 22, 2026
in Amawulire
0 0
0
Embuga ya Kisekwa ewadde ensala ku gwa Kalindaluzzi mu Kika ky’Engeye
0
SHARES
2
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Leero nga 22/04/2026, Embuga ya Kisekwa ewadde ensala ku musango gw’okujulira ogwa Kalindaluzzi, mu kika ky’Engeye. Ensala y’Embuga ya Kisekwa eraze nti Buuzabalyawo James Kalumba ye mukulu w’omutuba gwa Kalindaluzzi omutuufu ng’ono ye musika wa Ssebayigga Yozefu, Kalinda.

Mu musango guno abaajulira kuliko; James Buuzabalyawo Kalumba, Yozefu Ssebayigga ne Mulisi Kakenga Wadda ate abaasinga omusango ogwali mu kkooti y’Akasolya kuliko, Kalumba Mark, Butaleeba John Bosco, J.C. Ngabo ne Kasujja Vincent.

Omusango guno gwasooka kuwaabwa mu Kkooti y’Akasolya k’ekika ky’Engeye. Mwami Kalumba Mark ye yaguwaabayo ng’agamba nti, mw. James Buuzabalyawo Kalumba obw’Omutuba gwa Kalindaluzzi yabulya nsowole. Kkooti y’Akasolya yawa ensala yaayo nga 10/06/2017. Omusango guno gwali ku fayiro No. 001/12/2016. Bwe gwasalwa, gwasinga omuwawaabirwa James Buuzabalyawo Kalumba.

Eyasingibwa omusango, yajulira eri Olukiiko lw’Eddiiro ng’agamba nti; Kkooti y’Akasolya k’ekika ky’Engeye teyalina buyinza kuwozesa musango ogwo. Era yategeeza nti; Kkooti y’essiga lya Bakazirwendo ye yalina obuyinza obwo. Olukiiko lw’Eddiiro nalwo lwakkaanya n’omuwawaabirwa nti, omusango gudde ku ssiga lya Bakazirwendo. Olwo aliba tamatidde y’alijulira mu Kkooti esingako.

Kkooti y’essiga bwe yawa ennamula yaayo mu musango guno, yagusingisa omuwaabi mw. Kalumba Mark. Oluvannyuma eyasingibwa omusango ku ssiga, yajulira eri Kkooti y’Akasolya k’ekika ky’Engeye. Olwo Kkooti eyo n’ewulira omusango guno omulundi ogwokubiri era n’egusingisa James Buuzabalyawo Kalumba.

Mu kifaananyi kino ku ddyo ye Buuzabalyawo James Kalumba

Ennamula y’omulundi guno, nayo omuwawaabirwa James Buuzabalyawo teyagikkiriza, kye yava ajulira eri Olukiiko lw’Eddiiro omulundi ogwokubiri. Okujulira kuno kwakolebwa nga 01/12/2022. Embuga eno, okujulira kwa James Buuzabalyawo kuno, yakussa mu fayiro No: KD/01/2022.

Oludda olwajulira eri Eddiiro, bye lwasaba Embuga ya Kisekwa;

1. Baasaba Embuga eno esazeemu byonna ebyayisibwa Kkooti y’Akasolya kubanga yabikola mu bukyamu.

2. Baasaba Embuga eno eyimirize ebyo byonna Kkooti y’Akasolya bye yalagira, oludda oluwaabi okutuukiriza, okutuusa ng’Embuga eno ewadde okulamula kwayo ku nsonga zino.

3. Baasaba Embuga eno ekakase ensala ya Kkooti y’essiga lya Bakazirwendo eya nga 12/02/2021.

Oluvannyuma lw’okufuna okujulira kuno, Olukiiko lw’Eddiiro lwasalawo okusaba enjuyi zombi, oluwaabi n’oluwawaabirwa, okuleeta mu Mbuga eno okukubira kwazo mu buwandiike ku nsonga zino. Okusalawo kuno, enjuyi zombi zaakuwuliriza era ne zikuddamu mu biseera ebigere.

Eddiiro lya Katikkiro (Embuga ya Kisekwa) oluvannyuma lw’okunonyereza n’okukuŋŋanya obujulizi obwenjawulo, liwadde ebiragiro munaana (8);

Ekisooka: Eyajulira eri Embuga eno, mu musango guno, ye mukulu w’omutuba gwa Kalindaluzzi omutuufu, nga ye Buuzabalyawo James Kalumba omusika wa Ssebayigga Yozefu, Kalinda.

Ekyokubiri: Abaasinga omusango guno mu Kkooti y’Akasolya, tebaddamu okweyita abakulembeze b’omutuba gwa Kalinda.

Ekyokusatu: Ekitabo ky’omutuba gwa Kalinda ekikuumirwa ku Kasolya k’Ekika kino, biweebwe Owessiga Bakazirwendo olwo ye alyoke abikwase Owomutuba Kalinda. Ebiwandiiko byonna eby’omutuba mwami Butaleeba John Bosco bye yasigaza bwe yali akyali muwandiisi w’omutuba gwa Kalinda, abitwale eri Akasolya k’ekika kino, nabyo bisobole okutuuka ku w’Omutuba Kalinda nga biyita eri Owessiga lya Bakazirwendo.

Ekyokuna: Owomutuba Kalinda atuule n’Olukiiko lwe balonde abayima (trustees) abanaawandiisibwa ku ttaka ly’Obutaka bw’e Bulembo Ggoli, ng’enkola y’Obwakabaka bw’eri, okusobola okulikuuma obulungi.

Ekyokutaano: Ennyiriri zonna ezaagunjibwawo mu mutuba guno ogwa Kalindaluzzi, nga zeeyongera ku zinnansangwa zeekenneenyezebwe, ezitasaanidde zizzibweyo mu nnyiriri gye zaava.

Ekyomukaaga: Mwami Kalumba Mark, omu ku baasinga omusango mu Kkooti y’Akasolya, ye mukulu w’olunyiriri lwa Kalumba olusangibwa ku Ggoli Mawokota. Olunyiriri Kalumba, lwe lumu ku nnyiriri eziri wansi w’omutuba gwa Kalindaluzzi.

Ekyomusanvu: Embuga eno eyongera okunyweza kye yassa mu bbaluwa yaayo eya nga 17/07/ 2017, bwe yali etangaaza ku nsonga ezaali mu bbaluwa eyagambibwa okuba nga yava mu woofiisi eno eya nga 16/ 11/ 2006.

Ekyomunaana: Embuga eno ekubiriza enjuyi zombi nti; ng’omusango guno bwe guwedde, okusigala obumu, okusobola okukulaakulanya omutuba guno. Ekirala, ng’Embuga eno bw’eramudde nti; Ababadde bawozaŋŋanya bonna ba musaayi gumu, era nti; N’ensibuko yammwe y’emu, basaana okusigala obumu.Awo nno, tewaalibaddewo nsonga ndala yonna, yaalibalemesezza kutambulira wamu ng’abooluganda.

“Atamatidde na nsala eno, wa ddembe okujulira ewa Ssaabasajja Kabaka mu nnaku 30, okuva kati ensala eno lw’esomeddwa.Ensala eno esomeddwa leero nga 22/04/2026 mu Mbuga ya Kisekwa mu Bulange e Mengo” Omuk. Dr. Robert Ssonko Kisekwa asomye ensala eno.

Ensala y’omusango guno eteereddwako emikono gy’abakiise b’Olukiiko;Omuk. J. M. Kateregga, Ssentebe w’eddiiro lino omuwummuze, Omuk. Lubega Ssebende, muwandiisi ku lukiiko, Omuk Salim Makeera, mmemba, Omuk Wilson Ssentoogo, mmemba, Omuk Jamil Ssewannyana, mmemba, Omuk. Samwiri Walusimbi, mmemba, ne Omuk. Makumbi George, mmemba.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.