• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Wamala alambudde ekika kye Ntalaganya e Bbambaga n’abasibirira entanda

Gambuuze by Gambuuze
April 21, 2026
in Amawulire
0 0
0
Minisita Wamala alambudde ekika kye Ntalaganya e Bbambaga n’abasibirira entanda
0
SHARES
22
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Bbambaga-Bulemeezi

Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda mu Bwakabaka Oweek Anthony Wamala alambudde ekika kye Ntalaganya e Bbambaga mu ggombolola ya mituba 9 Kapeeka mu ssaza Bulemezi, asoose kulambula bifo bya nnono ekika kino bye kirina okuli olusozi Bbambaga nga okwo jjajja we Ntalaganya we yawumulira okuva mu ntabaalo zeyalingako, ne kibira Nambaga nga ye mukyala wa Bbambaga yawumuzibwa mu kibira ekitambulirako omuzizo gw’qbakyala bokka okukiyingiramu.

Minisita Wamala abe kika kye Ntalaganya abasibiridde ensonga nnya kw’atadde essira mu kulambula ebika kale nga n’ekika kino azibaddiddemu; “Obukulembeze, okukunga n’okwagazisa abazzukulu ensonga z’ebika, okukuuma eby’obuggaga by’ekika, ze nsonga zentambulirako mu kulambula ebika era ndowooza nti kikulu nammwe abe Ntalaganya mbibabuulireko kale singa tubitaputa bulungi tujja kuzza ebika ku ntikko” Oweek Wamala.

Minisita Wamala asabye abakulembeze b’ekika kino okubaga enteekateeka ez’okwekulaakulanya ezisookerwaako nga okwo kwe banaaava okukola eby’amaanyi bye bayaayaana okukola.

Ku nsonga y’okuyisibwamu amaaso naddala abakiririza mu ddiini ab’e kika kye Ntalaganya gye bamulopedde Oweek Wamala bano amagezi gabawadde ga kufuba kuyonja mbuga za kika zonna gye ziri zitukagane n’omutindo gwabo ababanyooma ate zisikirize n’abavubuka b’ensanji zino bayite ba Gen Z.

Minisita Wamala abeddira entalaganya abasabye okussa mu nkola ennambika eva embuga naddala eyakatongozebwa eya situla omutindo nga bano abakubirizza okukola emirirmu gyabwe gyonna ku mutindo.

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka Augustine Kizito Mutumba asabye ab’ekika kino okuzza Buganda ku Ntikko okuyita mu kutambulira ku Mulembe Omutebi ogw’okuwandiika n’okusoma ebitabo bafune okumanya okuva mu magezi agakwekeddwa mu bitabo naddala ebyo ebiwandikiddwa abataka abakulu ab’obusolya ku miramwa egyenjawulo.

Omukulu w’ekika kye Ntalaganya oOmutaka Bbambaga Paul Ganyenya akubirizza bazzukulu be okumanya n’okwagala ekika kyabwe beekwate obuvunanyizibwa bw’okukikulakulanya nga bafaayo ku nnambika ebaweebwa olukiiko olufuzi olw’ekika.

Katikkiro w’ekika kino Mayanja Balamaga Majidu alaze enkulaakulana ezituukiddwako ekika kyabwe omuli okuggulawo akawunta kwe beterekera ensimbi mu Stanbic Bank, okwetaba mu mizannyo gy’Ebika n’okuteekawo empaka mu masiga, okutereeza obukulembeze mu masiga g’ekika gonna, okuggulawo emikutu gi mugatta bantu gyonna okusobola okutambuza amawulire g’ekika, okutuukiriza ebibakakatako mu lukiiko lw’abataka wamu n’okwezza ettaka lyabwe eryali lya batwalibwako, okuwandiika ekitabo ky’ekika wamu n’emirimu emiralala. Ono alaze nti wadde balina bye bakoze naye olukangaga lw’emirimu gye balina lukyali lunene kyokka nga bamalirirdde okulaba nti babikola.

Omukubiriza w’olukiiko lwa Kkangaawo Omw. Dan Ssenku kulwa Kkangaawo asabye abakulira ekika kye Ntalaganya okuwandiika ebikwata ku kika kyabwe olwo bazzukulu babwe basobole okubimanya ekiseera kyonna nga tebalina muntu kwe besigamye wabula ku biwandiiko ebitongole.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.