Bya Pauline Nanyonjo
Lwentunga – Bulemeezi
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Anthony Wamala alambudde obutaka bw’Ekika kye Nkula ku kyalo Lwentunga mu ggombolola ya Ssaabaddu Kapeeka mu Ssaza Bulemeezi.
Minista Wamala asabye abakukembeze b’Ekika kye Nkula okwaŋŋanga ebisoomooza byonna ekika kyabwe bye kirina, basobole okukikulaakulanya.
“Ebizibu kitundu ku bukulembeze kyokka bisookera ku bakulembeze ab’awaggulu kyokka abakulembeze babeera bekenenyezeddwa okuba n’obusobozi okunogera ebizibu bye kika nga ekye Nkula eddagala” Oweek Wamala. Asabye abakulembeze mu Kika kino okuba n’obuyiiya wamu n’okutetenkanya okwenjawulo wakiri bafune omugabo ku bbasale za Kabaka e Mmengo abaana abazzukulu mu kika kino basobole okweyongerayo okusukka ku kibiina ekyomusanvu kye bamuloopedde nti abazzukulu bangi kye bakomamu.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba asabye abazira Nkula okwagala obuwangwa bwabwe nga babusoosowaza mu buli mbeera gye balimu nga ebyo ebirabibwa nga sitaani bye bakola ne bye bambala babifuula eky’omuwendo.

Ye omukulu w’ekika kye Nkula Omutaka Muwangi Gerald Ssemwezi Kibuuka asiimye Ssaabasajja Kabaka olw’empeereza ez’enjawulo z’atuusa ku bantu be naddala obujjanjabi n’enteekateeka z’enkulaakulana zonna.Katikkiro mu Kika kino, Capt. George Ssenyunzi alaze okwenyammira olwa bazzukulu be obutafuna buyigirize bumala ne batamalaako misomo ekibafuula ab’ekibogwe n’obutafuna bifo birungi mu ggwanga lino.
Kkangaawo Ronald Mulondo mu bubaka bwe obutuusidwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Kkangaawo Omw. Dan Ssenku asabye abakulembeze b’ekika kye Nkula okukuuma ettaka okutudde embuga y’ekika kyabwe baleke kubitunda wabula babikulakulanye nga bafuba okukuuma omutindo nga Obwakabaka bwa Buganda bwe bubalambika.









