Bya Miiro Shafik
Mbarara
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agenze e Mbarara okulambula abantu ba Kabaka ababeera mu Ankole ne Kigezi era eno asoose kusisinkana bayizi ba Nkobazambogo okuva mu matendekero ag’enjawulo nga bakuŋŋanidde ku ssettendekero, Mbarara University of Science and Technology.

Owek. Mayiga Bannankobazambogo abeebazizza olw’okubeera mu kibiina kya Nkobazambogo ky’agambye nti kibawa omukisa okutegeera obuvo bwabwe n’okwenyumiriza mu buwangwa bwabwe n’ennono. Asabye abavubuka okwekkiririzaamu, n’Okunywerera ku misomo n’addala nga bakitegeera nti obuyigirize kitegeeza omuntu okutegeera ebyo ebimwetoolodde nga mu bbyo mwe muli n’obuwangwa obunnyonnyola enneeyisa y’abantu b’ekitundu.
Katikkiro akubirizza abavubuka abayivu obutakoma ku kubeera na bitabo kyokka, wabula n’okumanya ensibuko yaabwe, kubanga bwe bugunjufu obusooka era obusobola okwesigamwako okutumbula ssaayansi ne tekinologiya okukulaakulanya eggwanga ng’abeeru bwe baakola okukuza Ensi zaabwe.
Owek. Mayiga yebazizza obukulembeze bwa Mbarara University of Science and Technology olw’okukkiriza abaana okwegalira mu kibiina kya Nkobazambogo ate n’okubalungaamyanga, yebazizza abakulembeze ba Nkobazambogo olw’omulimu gwe beekolamu obuteerabira waabwe, abasabye okutambulira awo.
Ensisinkano eno yetabiddwamu ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu n’okulambula kwa Kabaka Owek. Joseph Kawuki, ono asabye abavubuka okumanya nti Ssaabasajja Kabaka y’afuga Obuganda, n’abajjukiza okuteeka mu nkola ebiragiro by’embuga baleme kulya mu Kabaka waabwe lukwe, beewale omululu n’obwannakigwanyizi.
Owek. Kawuki abavubuka bano abatuusizaako n’obubaka okuva eri Minisita waabwe Owek. Robert Serwanga, ono abakuutidde okunyweza emisomo bayitire waggulu, okukola emikwano egy’ensonga n’okuweereza nga tebatunuulira wa webafuniramu wabula ekifaananyi ekigazi eky’okugatta ku Ggwanga lyabwe.

Ye Omwami wa Kabaka akulembera essaza lya Ankole – Kigezi Owek. Hajj Hassan Mutaasa Kafeero yebazizza obukulembeze bwa Nkobazambogo, olw’okulungamya obulungi abavubuka, ne yebaza ne Katikkiro awaayo obudde okulambika abavubuka mu nsonga z’obukulembeze.
Addirira Omumyuka wa Cansala wa ssettendekero wa Mbarara University of science and Technology mu kisaawe ky’Ebyenjigiriza Prof. Joseph Ngonzi, asabye wabeewo enkolagana ey’enjawulo wakati w’Obwakabaka n’ebitundu ebirala, okugonjoola ebizibu ebisoomooza abantu omuli obwavu, endwadde n’obutamanya, kyokka era asiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’ebyo ebikolebwa okukyusa embeera z’abantu. Ono yebazizza ne Katikkiro Mayiga olw’okuwangayo obudde okulambula abantu ba Kabaka.
Ssentebe wa Baganda Nkobazambogo ku ssettendekero oni Kamya Abbey Mulyanga, yebazizza Obwakabaka olw’omukwano gwe balaze abavubuka, era n’ategeeza nti newankubadde bali ku mawanga naye baanirizibwa bulungi, kyokka kino tekibeerebiza buvo bwabwe era ku lwa banne aweze nti ebbanga lyonna bajja kulwanirira Namulondo.

Ensisinkano eno yetabiddwamu abayizi Bannankobazambogo okuva mu Mbarara University of Science and Technology, Kampala International University, ettabi ery’e Mbarara, Kabaale University n’endala. Kamalabyonna okusisinkana abayizi bano awerekeddwako n’Abaami ba Kabaka; ow’Essazza Kyaddondo, Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu, owa Butambala, Katambala Sulaiman Magala, owa Gomba, Kitunzi Fred Mugabi n’abaweereza b’Obwakabaka abalala.










