• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro alabudde Bannabyabufuzi abeefuulira ababalonda ne batabaweereza

Gambuuze by Gambuuze
April 8, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro alabudde Bannabyabufuzi abeefuulira ababalonda ne batabaweereza
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Hashim Ssembusi

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi abawangula ebifo byobukulembeze ku mitendera egy’enjawulo obutava ku mulamwa ogwabalondesa okutuuka mu bifo mwe bali, bafube okutuusa obuweereza obusaanidde eri abantu abaabalonda naddala nga basoosowaza nnyo enteekateeka z’ebyobulamu, ebyenfuna n’ebyenjigiriza.

Mukuumaddamula agamba nti Bannabyabufuzi bangi bamanyi okwekyusiza mu kiti nga embazzi ne bava kw’ebyo ebyabalondesa ne kiretera abalonzi bangi obutaganyulwa mu bukulembeze bwabwe. Bino abyogeredde ku mbuga y’Obwakabaka enkulu Bulange bw’abadde akwasa abantu ab’enjawulo emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gye baguze nga kuno kubaddeko Bannabyabufuzi, banabyanjigiriza, bannabyanfuna, amasomero n’amatendekero n’abantu ssekinoomu.

Buli lukya ebbugumu ly’eyongera mu misinde gyamazalibwa ga Kabaka eginaddukibwa nga 12 ku ssande ya ssabbiiti eno mu Lubiri e Mmengo ku mulamwa ogw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya nga Abaami be basaale era nga leero kamalabyonna akwasizza abantu abenjawulo emijoozi gy’okudduka emisinde gino.

Mu baguze emijoozi kubaddeko bannabyabufuzi okubadde Hajjat Hadija Namyalo akulira office ya Ssentebe wa NRM e Kyambogo nga baguze emijoozi gya bukadde 15, omubaka omulonde owa Kira Municipality George Musisi emijoozi akakadde kamu, Dr. Ronex Kisembo eyegwangiza okukiikirira Uganda mu paalamenti ya East Africa emijoozi gya bukadde bubiri kitundu ne satifikeeti ya kakadde kalamba, amaka n’amaka g’obwapulezidenti emijoozi gya bukadde kkumi.

Mu balala abaguze emijoozi kubaddeko Buganda Royol Institute baguze emijoozi egisoba mu bina (400), Muteesa I Royal University emijoozi egisobye mu 300, St. Lawrence University emijoozi 100, Lubiri High school main campus ne Buloba Campus emijoozi 2680, people’s Medical Hospital kasangati emijoozi ggya kakadde kalamba, Ibrahim Star depot e Wankulukuku emijoozi ggya kamu kitundu, amasomero g’abasodokidi baguze emijoozi gya kakadde kamu n’abantu abalala.

Bw’abadde abakwasa emijoozi, Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi abaawangula ebifo by’obukulembeze obutava ku miramwa egyabalondese okutuuka mu bifo mwe bali n’akubiriza okusoosoowaza okukola ku nsonga eziruma abantu.

Owoomumbuga era asabye abayizi abakyali mu masomero okwekuuma nga balamu era n’abakubiriza okwewala okweyingiza mu nsonga z’abantu abakulu eziyinza n’okubaviirako okukwatibwa obulwadde bwa mukenenya era akubirizza n’abantu bonna okutwala obulamu nga ensonga enkulu.

Omumyuka asooka owa Katikkiro era nga ye Ssentebe w’olukiiko olutegeka emisinde gy’amazaalibwa, Oweek. Al Hajji Twaha Kaawaase Kigongo akuburizza Bannabyabufuzi, n’abantu bonna mu Uganda okweyambisa ekiseera kino ekisigaddeyo bajjumbire okugula emijoozi gy’emisinde, ono akoowodde bonna abaneetaba mu misinde nga basimbulwa mu Lubiri bafube okukwata obudde.

Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmie Kisaakye yebaziza nnyo bannamikago n’abantu ba Kabaka bonna abajjumbidde enteekateeka y’emisinde, n’abeebaza okuba nti batadde ettofaali ku kaweefube w’okulwanyisa mukenenya.

Akulira office ya Ssentebe wa NRM Hajjat Hadija Namyalo yebaziza nnyo Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka bwonna olw’okubeera abasaale mu kulwanirira ebyobulamu naddala ensonga za mukenenya, ono asuubiza nti wakwongera okukunga bonna abantu babeeramu okulwanyisa okusaasaana kwa mukenenya.

Abantu abenjawulo bonna abeetabye mu kugula emijoozi beyanzizza nnyo Omuteregga olwa kaweefube gw’akoze mu byobulamu era ne bamuyozaayoza n’okutuuka ku mazaalibwa ge.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.