Bya Musasi waffe
Minisita Noah Kiyimba asabye Gavumenti ya Uganda okukwasizaako amatendekero g’ebyemikono ag’obwannannyini ku bikozesebwa, olw’omulimu gwe gakola okusomesa abaana b’eggwanga.
Owek. Kiyimba ng’ono ye Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, okwogera bino asinzidde ku Matikkira g’ettendekero Entebbe College of Business and Vocational Studies e Mpala mu Busiro.

Owek. Kiyimba agamba nti emirundi Gavumenti efaayo ku matendekero gaayo gokka n’etayamba matendekero gatandikiddwawo bantu kinnoomu ate nga nabo kye bakola kigasa baana ba Ggwanga na kutumbula byanjigiriza.
“Ebyuma n’ebintu ebikozesebwa mu matendekero ag’ebyemikono tebibeera byangu kufuna naddala olw’ebbeeyi yaabyo, n’olwekyo nsaba Gavumenti eyongere okukwasizaako amatendekero gano okufuna ebyuma eby’omutindo abaana bye bakozesa mu kusoma kiyambe amatendekero okufulumya abaana abatuukiridde obulungi” Minisita Kiyimba.
Owek. Kiyimba agamba nti Gavumenti w’esobola okukendeeza ku misolo egiteekebwa ku byuma ebikozesebwa mu kusoma esaana ekikole olwo amatendekero gabifune ku bbeeyi esoboka n’ebyenjigiriza mu ggwanga byongere okusituka.
Abatandisi b’essomero lino Francis Kibirige ne mukyala we Alice Kibirige bategeezezza nti ekyabatandisa essomero lino kwe kutondawo enjawulo ku bayizi abasoma mu matendekero aga waggulu ate ne bamaliriza nga banoonya mirimu, bbo kwe kutandika ettendekero okuwa abaana obukugu okwetandikirawo emirimu gye nnyini gye basomye.

Kibirige agamba nti abaana bangi bye basooma ssi bye bakola ate nga ssi kugamba nti tebirina katale wabula nga tebaafuna bukugu bumala kutuukiriza ebyo bye bakola kubiggyamu ssente, ono agamba nti omwana afunye obukugu ne bwaba tafunye mulimu mu kitongole atandikawo ekikye n’azimba mpola mpola.
Abayizi abasoba mu 60 batikiddwa mu masomo ag’enjawulo omuli okuzimba, okukanika, okufumba, eby’enviiri, ebyamasanyalaze, okutunga n’amalala.









