• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

SACCO zisabiddwa obutalwisa beewola kufuna ssente

Gambuuze by Gambuuze
March 28, 2026
in Amawulire
0 0
0
SACCO zisabiddwa obutalwisa beewola kufuna ssente
0
SHARES
18
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda busabye ebibiina by’obwegassi okukomya okukandaaliriza bammemba abaagala okwewola kubanga kiviirako abantu obutafuna mu nsimbi ze beewola kubanga oluusi bazifuna ebiseera by’ebyo bye bagaala okuzisigamu biyiseeko.

Obubaka buno Minisita wa Buganda ow’obulimi, obwegassi, obusuubuzi wekitiibwa Hajji Amisi Kakomo abuweeredde mu lukiiko ttabamiruka olwa Essuubiryo Zambogo SACCO olutudde ku Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mengo.

Owek. Kakomo ategeezeza nti abantu bangi basanga obuzibu n’ebibiina by’obweggassi ebibakaluubiriza okwewola ssente mu biseera we bazeetaagira. Ategeezezza nti omuntu asobola okusaba ssente ng’ayagala kusiga ne zituuka okumuweebwa ng’enkuba eweddeyo.Wano w’asabidde abakulira SACCO naddala mu Buganda okutereeza ensonga eno.

Minisita w’Abavubuka mu Buganda Owek. Robert Serwanga asinzidde mu ttabamiruka ono n’alangirira olukiiko lwa bboodi ya SACCO eno oluggya wewaawo abasinga ababadde ku nkadde bakomyewo ne ku mpya. Bboodi ya SACCO eno ekyusibwa luvannyuma lwa myaka ena (4), Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu asigaddeko nga Ssentebe ng’amyukibwa Ssul Sseremba ate Douglas Mukasa ye mubalirizi ku bboodi, Steven Lukenge ye muwandiisi ate ne bammemba abalala basatu okukola bboodi ya bantu musanvu.

Minisita Serwanga akubirizza abakulira SACCO eno okufuba okulaba nti bammemba abatereka nayo n’abo abagula emigabo, bafuna mu ssente zaabwe nga zibazaalira amagoba. Ono era abasabye okukozesa ku maanyi we kyetaagisa ku beewozi ab’ekyejo abataagala kusasula ssente mu budde kubanga enkola ng’eno ziviirako ebibiina by’obweggassi okugwa.

Ssentebe wa bboodi ya SACCO eno Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu yebazizza bammemba abatambudde nabo obulungi emyaka ena egiyise, n’abo abatambudde ne SACCO ebbanga eriyise era asuubiza nti baakwongera okufuba ku mpeereza ennungi eri bammemba. Kyokka akoowodde bammemba okwongera okugula emigabo era ng’agamba nti waakiri buli mwezi buli mmemba yandibadde agulayo omugabo.

Owek. Balikuddembe akubirizza bammemba ba SACCO okwongera okwettanira tekinologiya kubanga buli kikolebwa kifuuka kyangu nga tekinologiya akozeseddwa bulungi. Annyonnyodde nti omuntu mu kifo ky’okulinnya emmotoka okuva mu kyalo nti agenda ku ttabi e Kampala kuwaayo ssente kisinga n’aziweereza ng’akozesa tekinologiya.

Omulangira Walugembe Frederick nga y’omu ku beetabye mu ttabamiruka ono, akunze abavubuka okwegatta ku SACCO eno ng’akikaatiriza nti Kabaka okusinga yagiggulirawo bavubuka kale nga kirungi bagyeyambise bulungi.

Mu ttabamiruka ono ekiteeso kiyisiddwa buli mmemba aweebweyo nnusu lusanvu (700) ng’amagoba ku buli mugabo gw’alina n’ekittavu kino. Mu mbeera y’emu wabaddewo okusiima abo abasinze ku bannaabwe mu kukozesa empeereza za SACCO ez’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.