Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Libadde bugumu mu bayizi ba Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Mmengo bwe babadde mu kuvuganya kw’okwolesa ebitone n’obuwangwa (Cultural Gala 2026). Abayizi bano basinzidde mu nyumba zabwe ez’enjawulo okwolesa ebitone byabwe okuli Muteesa, Chwa, Mwanga ne Mutebi wansi w’Omulamwa ‘Tekinologiya mu kulambika n’okutumbula Obuwangwa ne nnono mu bavubuka’.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa lukiiko lwa Abataka Abakulu b’Obusolya Nnamwama Augustine Kizito Mutumba nga y’abadde omugenyi omukulu asabye abayizi obutekiriranya ku buwangwa bwabwe olw’ebigambo bya bannakigwanyizi.
“Tewabanga muntu akukakasa nti obuwangwa bwo bwa wansi, nze obuwangwa obwange bwe businga, ffenna tulina okulwana okulaba nti kye twatonderwamu era ekitulabikiramu tukirwanirira kirabike bulungi kuba tekitugaana kusikaasikako na kwongeramu bikirabisa bulungi naye nga tusigadde n’omulamwa” Omutaka Namwama bw’asomeseza.
Ku nsonga ya tekinologiya, Omutaka Namwama akubirizza abayizi okukozesa tekinologiya mu ngeri ennungi nga bakulaakulanya obuwangwa bwabwe nga tebabufeebya kubanga tekinologiya nga owa Ai asobola okutumbula ennono ku maaso g’abantu ne bazaagala n’okuzekwata.
Leticia Nakimuli omukwanaganya w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka ku lwa Minisita Choltilda Nakate Kikomeko anyonnyodde nti essimu ky’ekimu ku byanguya empuliziganya kyokka asabye abayizi okwetegekera gye balaga nga beyambisa amasimu gaabwe okugatunuulira nga emmotoka gye bavuga nga basalawo okuvuga obuwangwa bwabwe nga babukuza naddala olulimi oluganda nga balukozesa ku mitimbagano gye baliko.

Ssenkulu wa Buganda Royal Institute of Business and Technical Education Oweek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu alaze nti tebateekedwa kugaba magezi ga bitabo gokka wabula n’okuyamba abayizi okwezuula mu bitone byabwe nga bassa ekitiibwa mu buwangwa bwonna obuli mu Uganda. Ono asiimye abayizi abasomesebwa ku ttendekero lino olw’obutemotyamotya bwe kituuse mu kwolesa omulamwa ogwabaweebwa nga beteeseteese bulungi ne bolesa ebyasomeseddwa nga akkiriza nti bwe banaatambulira awo bakwanguyirwa ensi y’okukola.
Omukulu w’abayizi Hajjat Rehema Kaseenene anyonyodde nti bakola omukolo guno buli mwaka okusobozesa abayizi okukuza ebitone byabwe nga n’omulamwa ogwalondebwa omwaka guno abayizi basooka kugubasomesaako okuyita mu kyoto ekyakulemberwa Omulangira Kayemba Kayirani n’ebawagalwa mu kumanya endowooza zaabwe eri tekinologiya n’Obuwangwa.
Omukulembeze w’abayizi Kawooya Policapo asiimye bayizi banne olw’okwenyigira mu nteekateeka z’essomero nga bawuliriza okulungamizibwa kw’abakulu b’essomero.
Ennyumba ya Muteesa yesinze mu mpaka zonna abayizi mwe bavuganyiriza okuli okuyimba, okuzannya katemba, okuzina amazina g’ekinaansi agenjawulo nga bano basitukidde mu ngabo y’omwaka 2026 n’ente.









