• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abasajja mukomye obutiitiizi mufeeyo ku byobulamu – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
March 28, 2026
in Amawulire
0 0
0
Abasajja mukomye obutiitiizi mufeeyo ku byobulamu – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
30
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Kampala – Kyaddondo

Katikkiro Mayiga akubirizza abasajja okukomya obutiitiizi naddala mu nsonga z’ebyobulamu ze beesamba ennyo ne batuuka n’okudduka obuvunanyizibwa bwabwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga y’abadde omugenyi omukulu mu kivvulu ekiyitibwa Ettendo Worship Concert ekitegekebwa ekitongole ki Healthy Heart Foundation okusonderako ssente okuyamba ku baana abazaalibwa n’ebituli ku mitima. Eky’omwaka guno kitegekeddwa ku Hotel Africana, eno gy’asinzidde okugugumula abasajja obutatya buvunanyizibwa.

“Abasajja mulekere awo obutiitiizi, abasajja baagala nnyo okubafaako bajula kwagala kubagyamu ngatto nga batuuse ewaka, baagala kukangula maloboozi kuyomba na kwemulugunya, kyokka bwe kituuka ku buvunanyizibwa obulimu okusoomoozebwa babulekera bakyala” Owek. Mayiga.

Mu kivvulu kino balaze obutambi bw’abaana abamu ku bayambiddwa nga balongoseddwa emitima n’okulabirirwa obulungi oluvannyuma lw’okulongosebwa kyokka nga bwonna nga bulaga ba Maama be balabirira abaana mu mbeera eno.

Katikkiro wano w’asinzidde okugamba nti abasajja abafunisa abakyala bano embuto ate batandika okuwoza nti “ewaffe tetuzaala baana bwe batyo”. Agamba nti buno obutiitiizi bwa kutya buvunanyizibwa era kirabwa nnyo nga ba Maama be basinga okufaayo ku by’obujjanjabi. Bwatyo akalaatidde abasajja obutadduka buvunanyizibwa babeere bavumu bayimirire n’abantu baabwe ab’omumaka mu bulungi ne mu bubi, batambulenga ne bakyala okugenda mu malwaliro mu mbeera zonna.

“Abasajja tufeeyo nnyo ku byobulamu, tuleme kuba batiitiizi, bwe wabaawo ekizibu ekizze mu maka, abakyala tubakwatizeeko tubawanirire naddala mu byobulamu, awatali bulamu Buganda tesobola kudda ku ntikko, Uganda tesobola kutweyagaza, awonno ebyobulamu ebirungi ffenna tukitwale nti buvunanyizibwa bwaffe.” Mayiga.

Owoomumbuga yebazizza nnyo Owek. Namyalo ne bba Owek. Nsibirwa wamu n’abo be bakola nabo olw’okwewaayo, okwagala, n’okulumirirwa abalala ne batandika enteekateeka eyamba, agamba nti ogwo gwe mutima ogw’eddiini omutuufu. Akoowodde abantu n’ebitongole okuvaayo okuwagira enteekateeka eno okutaasa abaana b’eggwanga.

“Nneebaza Owek. Ritah Namyalo Waggwa n’Omwami we, olw’ekirowoozo kino, ebintu eby’okuyamba abalala ssi byangu, naye Ritah ono okugenda eyo mu nzigotta n’alera abaana n’akola atya, ndowooza gwe mutima ogw’eddiini gwennyini. Wano abantu baagala nnyo okwogera nti mukama yebazibwe, nneebaza mukama, mukama mulungi abantu babyogerayogera naye nze ebyo tebinkubya mabbabbanyi kubanga byangu okwogera naye ng’omuntu talina kikolwa na kimu, ne bwaba muliranwa nga talina mmere tosobola kugimuwa, naye nga ogamba Mukama yebazibwe! Ebikolwa bye biraga ekiri ku mutima” Katikkiro Mayiga.

Ye Ssenkulu wa Healthy Heart Foundation Owek. Ritah Namyalo Waggwa ansinzidde ku kivvulu kino n’ategeeza nti obulwadde bw’omutima abantu bangi tebabulinaako kumanya ate n’ababulina basanga obuzibu okufuna obujjanjabi obusaanidde olw’ensimbi ennyingi ezeetaagisa okubujjanjaba.

“Mu Uganda abaana 16,000 buli mwaka be bazaalibwa n’ebituli ku mitima, kati ggwe Mukama gw’awadde ekisa n’ozaala abaana nga tekuli alina kituli ku mutima, webaze Katonda kubanga ebizibu ebijjira ku bulwadde buno bingi ddala, tteebereza Maama alina okuwa omwana eddagala buli luvannyuma lwa ssaawa misana na kiro, kitegeeza n’otulo tusobola okumubula” Owek. Namyalo.

Owek. Namyalo agamba nti nga bakwataganye ne Rotary Club of Kampala Ssese Island, Indian Association of Uganda ne Rotary Club of Chennai mu India basobodde mu kiseera kino okuba nti baakajjanjaba abaana abawerera mu myaka ebiri (2), basobodde okuyamba abaana 41 okutwalibwa e India ne balongosebwa. Kyokka baakizuula nti abazadde ate bwe bamala okulongosebwa basigala beetaga okulabirirwa obulungi era ku bano 41 waliwo basatu (3) abaafa olw’obutalabirirwa bulungi oluvannyuma lw’okulongosebwa, era wano we waava ekirowoozo kya Ettendo Worship Concert okusonderako ensimbi okudduukirira abazadde mu mbeera eno.

Owek. Namyalo yebazizza bonna abawagidde enteekateeka y’okutaasa abaana abalina obulwadde bw’emitima, ategeezeza nti mu kivvulu ekyasooka baasobola okufissa obukadde 32 era zibayambye okutaasa abaana mu kubawa ebyokulya, okutwala mu ddwaliro okwongera okujjanjabwa n’ebirala era alaze essuubi nti mu mwaka guno bajja kutwala abawera 100 okulongosebwa, bwatyo n’akoowoola abantu okuyimirira nabo mu mbeera eno.

Ekivvulu kino kyetabiddwako Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, abakulu b’ebitongole, bannaddiini, n’abantu abalala bangi era wabaddewo okusanyusa mu nnyimba ez’amaloboozi okuva mu bayimbi Pr. Wilson Bugembe, Pr. Twins Herbert, chior; Golden Gates Choir, Streams of Life, Jehovah Shalom Acapella n’abalala. Abamu ku bawagidde enteekateeka eno baweereddwa ebirabo okubasiima.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.