Bya Hashim Ssembusi
Mmengo – Kyaddondo
“Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka tugidduke nga tuvuganyiza ne mu Bika byaffe” – Omutaka Kyeyune
Omukulu w’Ekika kya Nakinsige, Omutaka Kyeyune Fred Mayega asabye Abataka Abakulu Ab’obusolya okukubiriza bazzukulu baabwe okugula emijoozi bajjumbire emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka eginaddukibwa nga 12 Kafumulampawu, 2026, gino gigendereddwamu okusonda ensimbi okwongera okulwanyisa mukenenya okulaba nga weguutukira omwaka 2030 nga obulwadde buno bufuuse lufumo mu Uganda n’awalala.

Jajja kyeyune agambye Ssaabataka musaale nnyo mu kulaba nga abantu be babeera balamu nga n’olwekyo Abataka Abakulu b’Obusolya basanye basitukiremu bakunge bazzukulu baabwe okujjumbira emisinde gy’amazaalibwa, ate nga obulamu obutaasibwa bwabwe.
Omutaka Kyeyune bino byonna abyogeredde mu lubiri lwa Kabaka e mengo bw’abadde attikula Amakula okuva mu bantu ba Kabaka abavudde mu ggombolola Mut. II Nabweru (Ssaza Kyaddondo) ne Ssaabaddu Kagolo okuva e Kaliisizo mu Buddu wamu n’abantu ba Kabaka abeegattira mu kibiina Buganda Kwe Kwaffe nga ne bakiise Embuga.Okuva edda nedda nga Abaami n’Abazaana ba Kabaka be bavunanyizibwa okulabirira Namunswa nga bamuwa amakula era nga akalombolombo kano abantu bakabaka bakyakakuumye okutuuka ne leero.
Abantu ba Kabaka okuva mu Mut. II Nabweru nga bakulembeddwamu Omwami w’eggombolola eno Omumbejja Mariam Ndagire, Ssaabaddu Kagolo bakulembeddwamu Omulangira Wasajja Grama n’aba Buganda Kwe Kwaffe abakulembeddwamu Ssentebe waabwe Kyazze Bashir.
Mu makula (ebirabo) agaleeteddwa kubaddeko ente, enkoko, amatooke, omuceere, ssaabuuni, enku, embuzi, amagi, sukaali n’ebintu ebirala bingi.
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Omuk. Moses Luutu yebaziza nnyo abantu ba Kabaka olw’okubeera abasaale mu kulabirira Kabaka waabwe nga bamutonera ebintu ebyenjawulo. Ono asabye abazadde okuddamu okweza obuvunanyizibwa bw’okulabirira abaana baabwe basobole okulira mu kkubo eggolokofu.
Ssemwanga Joseph nga ye mukubiriza w’olukiiko lw’essaza Kyaddondo era nga y’akikiridde Kaggo asabye Abaganda okuddamu okubeera ne twekisize onga bwe kyabeera nga edda basobole okukuuma ebyama by’Obwakabaka obutiribiri.

Ssentebe wa Buganda Kwe Kwaffe Kyazze Bashir naye asinzidde wano n’akubiriza abavubuka mu Buganda okussa mu nkola ekiragiro kya Ssaabasajja eky’okweyambisa obulungi emitimbagano naddala omukutu gwa TikTok nga bagukozesa okutundirako eby’amaguzi bye bakola n’okuyisizaako obubaka obutwala Buganda mu maaso.









