• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abakulira amasomero bakubiriziddwa okutumbula ebitone by’abayizi ku mutindo ogusaanidde

Gambuuze by Gambuuze
March 23, 2026
in Amawulire
0 0
0
Abakulira amasomero bakubiriziddwa okutumbula ebitone by’abayizi ku mutindo ogusaanidde
0
SHARES
5
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bukubirizza abakulira amasomero okwongera amaanyi mu kutumbula ebitone by’abayizi ku mutindo ogusaanidde. Mu nteekateeka gye bwatongoza eyatuumibwa Situla Omutindo omuli ennyingo 6, ennyingo ey’omukaaga ya kutumbula bitone mu bavubuka naddala era amasomero g’Obwakabaka gongedde amaanyi ku nsonga eno.

Essomero Lubiri High School ettabi ery’e Mmengo litegese entujjo y’okwolesa ebitone mu nnyimba, amazima n’emizannyo era abayizi bavuganyiriza mu nnyumba 4 ezabbulwa mu Bassekabaka ba Buganda; Muteesa, Chwa, Ssuuna ne Mwanga. Ennyumba ya Ssuuna y’ewangudde empaka z’omwaka guno n’obubonero 613 n’eddirirwa eya Mwanga n’obubonero 609 ne kuddako Muteesa 597 ate Chwa n’esembayo n’obubonero 579.

Minisita w’enkulaakulana y’abantu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko y’abadde omugenyi omukulu, ategeezeza nti amasomero okuteeka essira ku kutumbula ebitone kikulu nnyo kubanga ebitone biyamba okutegeera obulungi omwana, n’okuzuula ebyo oluusi ebitasobola kulabika ng’ali mu kibiina, kyokka okuyita mu bitone omwana asobola okumanyibwako obukugu bwe bwonna, olw’ensonga nti akolera wamu ne banne, ayiga okwekiririzaamu, n’ebirala.

“Mu Bwakabaka tuli mu nteekateeka ya kusitula mutindo mu buli kikolebwa, era tulabye omutindo omulungi mu byonna abaana bye boolesezza, awo we twagala abaana baffe batambulire bakole ebyannaggwano, nneebaza buli ateeka ettofaali mu kutumbula ebitone by’abaana, abasomesa, abazadde, abatendesi n’abaana bennyini abeetabyemu” Minisita Nakate.

Minisita Nakate taleseeyo kukunga bantu kujjumbira nteekateeka za kujaguza Amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 71 naddala okugula emijoozi okwetaba mu misinde eginaabaawo nga 12/04/2026 omwezi ogujja naddala olw’ekigendererwa ekikulu eky’okulwanyisa mukenenya.

Omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno era munnabitone Sam Bagenda amanyiddwa ennyo nga Dr. Bbosa agamba nti ye amaze emyaka 40 mu kisaawe ky’ebitone asanyuddwa nnyo ebitone ebyoleseddwa abayizi ng’agamba nti by’alabye abaana bakola biwa essuubi nti Eggwanga lirina bannabitone mu biseera ebiddako. Ono yebazizza Obwakabaka bwa Buganda, obukulembeze bw’essomero, abasomesa n’abatendeka abayizi olw’okuteeka essira mu kutumbula ebitone by’abaana. Ono yebazizza abazadde bonna abeetabye ku mukolo guno olw’okubaawo ne bawagira abaana baabwe.

Dr. Bbosa agamba nti enteekateeka ya Gavumenti okukyusa eby’ensoma ne kugattibwako eby’emikono ebikolebwa wabweru w’ekibiina kirungi nnyo kubanga kiwa abaana omukisa okwezuula mu bintu bingi ebibayamba okuwangula mu bulamu bw’ensi. Ono akubirizza abantu ensonga 5; okwekwata ku Katonda n’essaala, okulemerako, obutenyooma, obugumiikiriza n’okubeera n’okwagala.

Dr. Bbosa ayogedde ku nsonga y’ebbago ly’etteeka erirungamya ebiyiiye eryayisiddwa Paalamenti (Copyright law) gye bubuddeko, ategeezeza nti ekiseera kituuse bannabitone bateerwewo Minisitule abalambika n’okubalungamya ku mirimu gyabwe, ng’eno y’ejja okubaamu abakugu abanaayambako bannabitone okutegeera n’okufuna mu mulimu gwabwe n’ebiyiiye bye byateekamu amaanyi, obudde n’amagezi gaabwe.

Omukulu w’essomero lino yebazizza abayizi olw’okwolesa obulungi ebitone, ne yebaza n’abasomesa abataddeyo omwoyo okutendeka obulungi abaana, yebazizza n’abazadde abawagidde abaana baabwe okutumbula ebitone byabwe. Ono akubirizza abayizi okukozesa ekiseera nga bali ku ssomero okusitula ebitone byabwe ng’agamba nti emirundi mingi ebitone bigatta omuwendo ku misomo n’ebintu ebirala ebitwala abaana ku ssomero.

Wasswa Samuel Omuyima w’ekitongole ky’ebitone mu ssomero lino akubirizza abazadde okwagazisa abaana baabwe okutumbula ebitone byabwe kibayambe okubeera abavumu, okuyiga okwogera mu bantu, empisa, okukolera awamu ne bannaabwe, obukulembeze n’ebirala.

Agamba nti omuyizi okwenyigira mu bintu nga bino afunamu bingi oluusi by’atafuna mu kibiina naddala nga okumanyiira olugendo lw’okuyiga ekintu kyonna, ono annyonnyodde nti kubanga wabaawo ebbanga abaana lye bamala nga batendekebwa bayiga okukwata ebintu eby’enjawulo mu mpola mpola, ekibayigiriza okukwata buli kye bakola mpola mpola.

Ku mukolo guno n’omuyizi eyasinga banne mu bigezo bya siniya ey’omukaaga ebya 2025 asiimiddwa, ng’ono ye Mulongo Kato Bruno yafuna obubonero 20, aweereddwa akakadde kamu (1,000,000) nga bwe kyasalibwawo bboodi y’essomero ate n’akiikirira abaasomerako ku ssomero lino ku bboodi naye amugattiddeko akakadde kalamba.

Enteekateeka eno yetabiddwako Minisita w’enkulaakulana y’abantu mu Buganda era avunanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, abadde omugenyi omukulu, Omuk. Robert Ssewava akulira Olubiri lw’e Mmengo, munnabitone Sam Bagenda (Dr. Bbosa), abakulembeze ku lukiiko lwa bboodi y’essomero lino, abazadde n’abayizi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.