• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okusaala Eid e Butambala: Katikkiro avumiridde eby’okukwata abantu ebisusse

Gambuuze by Gambuuze
March 20, 2026
in Amawulire
0 0
0
Okusaala Eid e Butambala: Katikkiro avumiridde eby’okukwata abantu ebisusse
0
SHARES
12
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Kabasanda – Butambala

Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ebikolwa by’okukwata abantu ebisusse mu ssaza Butambala by’agambye nti bitadde abantu ba Kabaka ku bunkenke, era asabye wabeewo okutabagana okusinga okusika omuguwa nga Kabaka bwe yalagidde mu bubaka bwe obwa Eid.

Kamalabyonna bino abyogeredde Butambala bw’abadde yetabye mu kusaala Eid Al-Fitr mu muzikiti gw’e Kabasanda.

Abaddu ba Allah okwetooloola ensi yonna bazadde esswala ya Eid Al-Fitr oluvanyuma lw’okumalako ekisiibo eky’omwezi omutukuvu ogwa Ramadan.

Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga ye ku mulundi guno yegasse ku basiraamu e Butambala okubakulisa ekisiibo n’okwebaza Allah abasobozesezza okumalako Ramadan.

Disitulikiti kaadi wa Butambala Sheikh Sowedi Lutwama y’akulembeddemu okubuulira era akalaatidde abasiraamu ne mu luvannyuma lw’ekisiibo okusigala nga beeyisa bulungi nga bakolagana bulungi nabo be bawangaala nabo, Allah asobole okubawa ekisinga obulungi. Ono akubirizza abazadde okuteeka omugaati ku kuteekateeka abaana baabwe ate n’abaana abakubirizza okuyisa obulungi bazadde baabwe naddala nga bakuze mu myaka.

Ssentebe w’omuzikiti gw’e Kabasanda Sheikh Hamidu Muguluma ategezezza katikkiro nti ekitta bantu e Butambala ekyaliwo mu biseera by’akalulu mu kitundu kyabwe kyabayisa bubi nnyo ate kuno ne kwegattako n’okukwata abantu baabwe ga kino agamba kikyagenda mu maaso era ono asabye Katikkiro okugattako eddoboozi okusaba ab’obuyinza okukomya ebikolwa bino ebitadde ebitundu bya Butambala eby’enjawulo ku bunkenke.

Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala naye ategezezza Kamalabyonna nti e Butambala abantu ba Kabaka basula ku tebukye olw’abantu abakwatibwa enkya n’eggulo ate nga kikolebwa ab’ebyokwerinda. Ono asabye Bannabutambala okubeera obumu n’okwesonyiwa ebyobufuzi mu kiseera kino ng’agamba nti ekiseera ky’ebyokulonda nga kwe kyaggwa, kirungi abantu bazze emitima gyabwe, baffe ku mirimu egibasitula n’ekitundu kyabwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kwogera kwe, alaze obwenyamivu olw’abantu abakwatibwa mu Ssaza Butambala ng’agamba nti embeera ng’eno ekosa enkulaakulana mu kitundu olw’abantu okubeera ku bunkenke. Wano w’asabidde wabeewo okutabagana okusinga okusika omuguwa nga Kabaka bwe yalagidde mu bubaka bwe obwa Eid. Al-Fitr 2026.

“Mu bubaka bwa Kabaka bwe yatuwadde obwa Eid El-Fitr 2026, nja kuggyamu ennyingo 4; Kabaka yakubirizza Abasiraamu okweyisa obulungi, abavubuka obutakozesa bubi mitimbagano, abalondebwa okukolera abaabalonda naddala mu kulwanyisa enguzi n’okulwanyisa obwavu, ate bonna abeetaba mu kukonda y’abakubirizza okukomya obugulumbo, wabeewo okukkanya” Katikkiro Mayiga.

Owomumbuga akalaatidde abasiraamu okusigala nga bagoberera omulamwa gw’ekisiibo beewale okukola ebinyigiriza bantu bannaabwe, babaagale nga bwe baagala Katonda. Yebazizza abasiraamu be Kabasanda okukuuma n’okukulaakulanya ettaka ly’omuzikiti n’abasaba okutereeza obusenze bwabwe ewa Ssaabasajja Kabaka.

Mukuumaddammula bw’avudde ku muzikiti e Kabasanda akyaddeko mu maka ga Hajji Twaha Sserunjogi Mutyaba, era eno eky’emisana kya Eid gy’akikwatidde n’omwami w’Essaza Katambala Sulaiman Magala n’abagenyi ba Hajj abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.