Bya Gerald Mulindwa
Minisita w’ebizimbe n’ettaka mu Bwakabaka alambudde ennyumba ezazimbibwa ekitongole kya Shelter Settlement Alternative okujuna abakyala abaali bakolera mu Kisenyi ate nga basula mu nzigotta, abeegattira mu kibiina kyabwe “Kwefaako Housing Cooperative” e Bujuuko ku luguudo lw’e Ssentema.

Okulambula kuno kugendereddwamu okufuna amagezi n’okumanya enteekateeka eno bwetambula olwo obwakabaka nabwo bubeereko kye bukolera abantu b’abwo abasula mu nzigotta naddala mu Kampala n’ebitundu ebiriraanyewo.
Ssaabasajja Kabaka mu kaweefube gw’aliko ow’okukyusa embeera z’abantu, ayagala ekizibu ky’okusula mu nzigotta akirinnye ku nfeete nga azimba ennyumba ez’okusasulwa ku bbeeyi ensaamusaamu ate ku kibanjampola eri abantu bamufuna mpola.
Bw’abadde alambula polojekiti y’amayumba omusula abakyala bano eya “Kwefaako Housing Cooperative”, e Bujuuko Wakiso, Minisita David Mpanga, agambye nti Ssaabasajja Kabaka tayagala mbeera ya nzigotta era alina okwolesebwa nti ekizibu kino kisobolera ddala okuggwawo singa ennyumba ziba ku bbeeyi ensaamusaamu omuntu wa bulijjo z’asobola.
Oweekitiibwa Mpanga agamba nti okusinziira ku kyalabye mu kulambula kuno, okwolesebwa kwa Ssaabasajja Kabaka kusobolera ddala okuteekebwa mu nkola kubanga ebintu eby’enkizo ebitandikirwako weebiri okuli; abantu, ettaka, abakugu mu by’okuzimba, ababazi b’ebitabo, bannamateeka, era bino bisobola okuyambako mu kutandika polojekiti y’obwakabaka ate n’abantu ba Kabaka bajja kugyettanira olw’obwesige bwe balina mu bwakabaka.
Polojekiti eno esuubirwa okutandikira mu Ssaza Busiro ne Kyaddondo. Dorothy Baziwe, akulira Shelter Settlement Alternative, ekitongole ekyazimbira abakyala ennyumba e Bujuuko, ategeezezza nti nga batandika okuzimba ennyumba zino, abakyala bano buli omu yasooka kuwayo akakadde k’ensimbi kamu okulaga nti mwali mu nteekateeka, era baasobola okuzimba ennyumba 24 nga buli nnyumba ebalirirwamu obukadde 26, erimu ebisenge bibiri, eddiiro, ekinaabiro, n’ekiyungu, era buli mwezi buli omu awaayo emitwalo musanvu (70k) okutuusa lwalimalayo obukadde 26. Baziwe musanyufu kubanga abakyala bano basobodde okwerwanako era ensimbi bazisasula bulungi.

Charles Kiberu Kisiriiza, Omwami w’Essaza Busiro, nga y’omu ku beetabye mu kulambula kuno, agambye nti enkola egenda kutereeza eby’ensula by’abantu ba Buganda bafune obulungi obuggya era obweyagaza bw’atyo n’asaba abantu ba Kabaka okujjumbira enteekateeka bweneeba etandise.
Ku babadde mu kulambula kuno kuliko; Omuk. Kiggundu Robert memba ku lukiiko olufuzi olwa Buganda Land Board, Dr. Ian Ssenkatuuka, amyuka Ssentebe wa Board ya Namulondo Investments Ltd, Maria Namuyaba Walakira, Ssenkulu wa Namulondo Investments Ltd, Trevor Tomusange akulira okulabirira ebizimbe mu Namulondo investments.









