Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula ku bantu be abakolera mu katale ke e Katwe.
Ekiro ekyakeesa olwa bbalaza nga 16 Mugulansigo 2026 nabbambula w’omuliro yakwata mu katale ka Kabaka ak’e Katwe n’asanyaawo ebintu bya bukadde na bukadde era abantu bangi ne basigala mu maziga olw’okufiirwa ebintu byabwe.Wakati mu mbeera ey’okusoberwa, abasuubuzi mu katale kano ak’e Katwe bafunye ku kamwenyumwenyu abalala essanyu ne libayitirirako ddala oluvannyuma lw’okulaba ku Ssaanyulyabuganda Ronald Muwenda Mutebi II.

Essaawa ez’emisana Nnyinimu ze yayingidde mu katale kano n’alambula ku bamu kw’abo abafiiriddwa emmaali yaabwe era w’aviiriddeyo nga bangi bafunye ku ssuubi.Wabaddewo abasuubuzi ababadde batidde nti embeera y’akatale kano okukwata omuliro wandibaawo abaagala okukezza nga tebatidde na bwanannyini bwako obumanyiddwa obulungi nti Katale ka Kabaka akalabirirwa ekitongole ki Rexba.
Kyokka okulabika kwa Kabaka mu katale kano, kuwadde abasuubuzi essuubi nti ekifo wekiri.Abasuubuzi mu katale kano balaze essanyu ery’emirundi egyenjawulo, okusooka okulaba ku Kabaka, okulambulwa nga bafiiriddwa ebintu byabwe, n’essuubi okubaddamu oluvannyuma lw’okulaba Beene ng’asitukiddemu.
Poliisi mu kiseera ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku nsonga eyaviiriddeko omuliro guno.









