Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo
Amasomero g’Obwakabaka ganjudde ebyava mu bigezo bya siniya ey’omukaaga ebyatuulwa omwaka oguwedde 2025.
Ebyanjuddwa olwa leero biraga nti Abayizi abawala baasukkulumye ku balenzi. Amasomero okuli; Bbowa Vocational Secondary School, Lubiri high school Mengo campus, ne Lubiri High School Buloba campus, ge ganjulidde Minisita w’enkulaakulana y’Abantu Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ebyava mu bibuuzo bya siniya ey’omukaaga mu 2025.

Abakulira amasomero gano balaze ebyabasobozesa okukola obulungi ate n’okusomoozebwa okwali mu kuteekateeka abayizi basobole okutuula obulungi ebigezo bino.
Okutandikira ku Lubiri High School, Mmengo Campus omukulu w’essomero lino Nampijja Immaculate alaze nti ku bayizi 113 be baatuuza lwakiri nabo balinayo omuyizi eyamalayo obubonero 20 mu PCM/ICT ate abalala nebagoberera n’obubonero 19 okukka wansi era abayizi abasomera ku nsawo ya Kabaka ey’ebyenjigiriza be baasinga okukola obulungi.
Ku Lubiri High School, Buloba campus omukulu w’ayo Ssebina Charles agambye nti abayizi baabwe basinze kuyita masomo ga ssaayansi, omuyizi eyalidde mu banne akendo yafunye obubonero 19 abalala ne bagoberera. Eky’enkizo ekyabadde ku ssomero lino kwe kuba nti baakutte kya kuna mu masomo g’ebyobulimi mu disitulikiti ye Wakiso yonna.
Ate ku Bbowa Vocational Secondary School e Bulemeezi, omumyuka w’omukulu w’essomero lino Ssekasamba Steven alaze nti ku bayizi 18 be baatuuza, eyasinga yafuna obubonero 19 nga abadde akola amasomo ga saayansi ate eyakwebera yafuna obubonero 9 kyokka nga naye asobolera ddala bulungi okuyingira University.
Ku ssomero lino abawala be baasinga abalenzi nga n’omuwendo gwabwe gwali mungi (10), n’alaga nti waliwo essuubi ery’okwongera okukunga abaana abalenzi bongeremu amaanyi mu misomo gyabwe. Nga akwasibwa ebyavudde mu bibuuzo bino, Minisita w’ebyenjigiriza n’enkulaakulana y’Abantu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko yeebazizza abakulu b’amassomero gano olw’amaanyi ge bataddemu mu kugunjula Abaana b’eggwanga n’abasaba okunywerera ku mutindo.

Minisita yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusomesa abayizi ab’enjawulo ku nsawo ye eya Kabaka Education Fund gy’agambye nti etaasiza abayizi bangi obutawanduka mu ssomero nga tebamazeeko misomo gisooka balyoke bafune obukugu.
Ssentebe wa boodi ya Lubiri High School Buloba Campus, Amos Gitta agambye nti amasomero g’Obwakabaka gongedde okuseeseetuka mu nsomesa bwogeraageranya n’emyaka egiyise era baakwongera okusitula omutindo ogutuukana n’ekitiiibwa ky’obwakabaka.









