• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Empaka z’amasomero mu Buganda 2026 zikomekkerezeddwa

Gambuuze by Gambuuze
March 15, 2026
in Amawulire
0 0
0
Empaka z’amasomero mu Buganda 2026 zikomekkerezeddwa
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Kawanda – Kyaddondo

Empaka z’amasomero mu Buganda 2026 zikomekkerezeddwa ku Kawanda SS, zimaze ennaku 5 nga ziyinda.

Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika y’akiikiridde Katikkiro mu kuggalawo empaka zino, era ono atenderezza omutindo ogw’oleseddwa abayizi mu mizannyo gyonna, gw’agambye nti gwongera okulaga ekitiibwa ky’Obwakabaka naddala nga waliwo n’emizannyo emipya egireeteddwa mu mpaka ate ne gijjumbirwa bulungi.

Owek. Bwanika yebazizza Minisita w’Ebyemizannyo n’olukiiko lw’alambise mu kutegeka empaka zino, ng’agamba nti bano basobodde okuggyayo okulambika kwa Kabaka okw’okutumbula ebitone by’abavubuka wamu n’abantu okukuuma emibiri gyabwe nga miramu bulungi.

“Ebyemizannyo osobola okugamba nti y’ensibuko y’obulamu obulungi era biwanirira bannansi b’eggwanga lyonna okubeera abalamu, ate nga mulimu n’okusitula ttalanta nga bwe tulabye wano, nti bannabyamizannyo abanaabeera abaamanyi mu ggwanga lyaffe baviira ddala mu mpaka nga zino ez’amasomero” Owek. Bwanika.

Owek. Bwanika ategezezza nti emizannyo mu Buganda kumpi giri mu buwangwa kubanga okuva edda nga bajjajja abaasooka beetaba mu mizannyo nga omweso, enkuyo, n’emirala eginyweza obwasseruganda n’obumu mu bantu. Asabye emizannyo egy’edda gyongere okulowoozebwako mu mpaka zino. Yebazizza aba Kawanda SS abakyazizza empaka z’omwaka guno wamu ne bonna abeetabyemu.

Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga ategeezeza nti empaka z’amasomero ez’omwaka guno mukisa gwa maanyi Kabaka gw’awadde abaana b’eggwanga kubanga abayizi abazannyi abasoba mu 3,600 be beetabye mu mizannyo gyonna awamu ku mutendera gwa pulayimale ne siniya.

“Empaka zino zizze zikula kubanga ku mulundi guno tufunye amasomero ga siniya 62 n’aga pulayimale 25, omugatte amasomero 87 okwawukanako n’enkaaga (67) ageetaba mu gy’omwaka oguwedde, waliwo okukula mu mizannyo gino, ne tweyongera ne ku bisaawe bye tukozesa era nneebaza amasomero omunaana (8) agatuwadde ebisaawe mwe tutadde emizannyo egy’enjawulo” Minisita Serwanga.

Minisita Serwanga atenderezza empisa ezooleseddwa mu mpaka zino era ne yebaza abakulembeze b’amasomero naddala abavunanyizibwa ku by’emizannyo olw’okuteekateeka obulungi abayizi. Ategeezezza nti empisa bwe zikwatibwa bweziti ebbanga lyonna, empaka sijja kwongera okukula. Yebazizza abayizi bonna abawagidde bannaabwe okubazzaamu amaanyi, ne yebaza ne bonna abakoze ekisoboka empaka okuggwa obulungi.

Emizannyo 12 gye gyategekebwa okuzannyibwa omwaka guno, kyokka 10 gye gizannyiddwa kubanga abalina okwetaba mu Rugby 7s n’omweso beewandiisa batono ddala.Amasomero nga bwe gakoze mu mizannyo egy’enjawulo abakute ekisooka n’ekyokubiri biragiddwa wansi wano.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.