Bya Miiro Shafik
Empaka za Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda zikomyewo omwaka 2026 ku mulamwa “Amagezi amayiiye (AI), Obuwangwa n’Ebyobulambuzi”. Okuwandiisa abaana abagenda okuvuganya mu mpaka zino kugenda mu Masaza gonna, wamu ne ku kitebe ky’ebyobulambuzi mu Buganda ekisangibwa okuliraana Butikkiro.

Empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda zitegekebwa buli mwaka okufuna ababaka abanaatumbula ebyobulambuzi bya Buganda okwetooloola Ensi yonna. Bano bavuganya okuviira ddala mu Masaza gaabwe, ng’eno abasinze basatu (3) mu buli Ssaza bayitawo okuvuganya ne bannaabwe abavudde mu Masaza amalala. Abawala basatu ea abasinze mu bano be bakiikirira Buganda ku mutendera gw’empaka zino ogwa Uganda yonna (Miss Tourism Uganda).
Mu 2022, Kyaddondo yetikka empaka zino, Nabulya Sydney Kavuma ow’e Ngo ye yanywa mu banne akendo, ono teyakoma ku Buganda yokka, yetikka n’Engule eya Uganda yonna era n’akiikirira Ensi ye mu mpaka eza Miss Tourism International ng’eno ye yasinga mu kwolesa ekitone. 2023, Nabakungulu Vanessa Hannah okuva e Buddu, ono Mubiito, ye yakira banne bonna, 2024 Kyaddondo yaddamu okuwangula empaka ng’eyita mu muwala eyeddira Ekkobe, Namale Kisha Ruth, ate omwaka oguwedde 2025, Nambaziira Joan okuva e Bukulu ye yawangula obwa Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda. Anaabeera ani omwaka guno, linaabera Ssaza ki…?
Dr. Aisha Kasolo mu kutongoza empaka zino asabye abaana abawala okubeera abamalirivu n’okukozesa ebitone byabwe okukyusa obulamu bwabwe n’obwabo ababeetoolodde. Yebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka eno ey’okutumbula eby’obulambuzi, era n’akubiriza abazadde okukwatirako abaana baabwe abeesowolayo okwetaba mu mpaka zino n’okubazzaamu amaanyi.
Omuky. Beatrice Mao naye eyetabye ku mukolo gw’okutongoza, ajjukiza abaana abawala nti obusobozi bwabwe businga kuva mu butenyoma, bwatyo n’akoowoola Abaana ba Buganda yonna gye bali okuvaayo beetabe mu mpaka zino.

Ssenkulu w’ekitongole ekitegeka empaka zino ki Buganda Heritage and Tourism Board, Omuk. Najib Nsubuga yebazizza ebitongole ebivuddeyo okuvujjirira enteekateeka eno ku lw’Obwakabaka n’akoowoola ne bannamukago abalala okubeegattako era asuubiza empaka zino okwongera okulinnyisa omutindo omwaka guno n’okusinga egiyise.
#MissTourismBuganda2026









